Endagaano ne Katonda (Olubereberye 12:1-3)

Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga. Ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo; era beeranga omukisa ggwe; nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n’oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby’omu nsi mwe biriweerwa omukisa.” (Olubereberye 12:1-3)

Ekyawandiikibwa ky’osomye olwa leero kivudde mu Lubereberye 12:1-3. Era wano twalabye erinnya Ibulayimu. Ibulayimu ly’erinnya amadiini amangi lye bayita bulijjo. Bamutwala nga jjajjaabwe w’enzikiriza yaabwe. Amadiini gano galimu Eddiini y’Ekiyudaaya abatwala Ibulayimu nga jjajjaabwe w’enzikiriza. Abasiraamu nabo batwala Ibulayimu nga jjajjabwe w’enzikiriza. Abakristaayo nabo batwala Ibulayimu nga jjajjabwe w’enzikiriza. N’abakatoliki batwala Ibulayimu nga jjajjabwe w’enzikiriza. Ekyo si kya bulijjo? Erinnya Ibulayimu liyitibwa amawanga mangi n’abantu okwetooloola ensi. Era atunuulirwa waggulu era n’aweebwa ekitiibwa nga omuntu omukulu. Ebigambo bye twakasoma byaatukilizibwa. Kyayogerwa,” Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga. Ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo; era beeranga omukisa ggwe!” Ebigambo ebyo byennyini byajja okutuukilizibwa.

Okuyita mu bayibuli n’okuyita mu Yesu Kristo, katonda gwe yatuma, tuzze okumanya ekyama kya Katonda. Ensonga lwaki tusobola okukola enkolagana ey’okumpi nga eno ne Katonda eri lwakubanga tufunye ekisa okuyita mu Yesu Kristo, era n’endagaano Katonda gye yakola ne Ibulayimu nayo etuukirizibbwa eri ffe. N’olwekyo, tetulina kutwaala kino mu ngeri ennyangu. Kikulu eri ffe okwetegereza ennyo omuntu ono ayitibwa Ibulayimu. Ye ye ani nti abantu bangi okwetooloola ensi bamussaamu ekitiibwa nnyo?

Naye kye njagala okwogera eri mmwe olwa leero si ye muntu yennyini, naye ku Katonda eyakola endagaano (ekisuubizo) n’omuntu oyo. Ye Katonda gwe tulina okussaako essira. Eriyo bakatonda bangi mu nsi eno. Bwe kityo, n’abantu abatakiliriza mu Yesu bamanyi kino. Abantu abamu bali kumpi nnyo ne bakatonda abamu. Naye, ekibuuzo kiri ani ku bakatonda abo gw’oyagala okubeera okumpi naye? Eno ensonga nkulu. Ffena tukimanyi nti kikulu okukola emikwano emirungi. Obulamu bwo bukwatibwaako nnyo lwa kika kya mikwano ki gy’okola. Okukuwa eky’okulabilako, waliwo omuntu eyali asenguka okudda mu US(Kibuga kya Amelika). Bwe yatuuka mu US, mukwano gwe n’ajja okumulamusa ku kisaawe ky’ennyonyi. Mukwano gwe oyo yakola ki nga omulimu? Mu nfuunda nnyingi, omulimu gw’omusenguse gujja kusalibwaawo kiki mukwano gwe ky’akola kubanga ekyo ky’asookera ddala okulaba era ky’asooka okuwulirako. Singa ow’omukwano aba ne bizinensi ey’okwooza engoye, Kiyinzika okuba nga nti omuntu naye alitandika bizinensi ey’okwooza engoye kubanga ayiga okuva eri mukwano gwe.

Mu ngeri yemu, obulamu bwange bujja kusalibwaawo katonda ki gwendikolagana na ye. Bwe naakolagana era ne nsigala okumpi ne katonda omukolimire, nange ndifuuka mukolimire. Bwe naaba n’enkolagana ne katonda omulwadde, nange naafuuka omulwadde. Bwe neseembereza katonda alina kkookolo, nange ndifuna kkookolo. Era bwe naabeera okumpi ne katonda eyalemelerwa, nange ndifuuka omulemye. Y’ensonga lwaki kya mugaso ku lulwo okumanyigana ennyo ne Katonda omuwanguzi, katonda alina amaanyi, katonda omulungi era ow’omukisa.

Era Katonda ono eyakola endagaano ne Ibulayimu ye Katonda yennyini gwe twandyaagadde okwanjula eri ggwe. Ye katonda gwetukolagana na ye mu kkanisa yaffe ne mu makanisa ag’abakristaayo. Katonda eyalabikila Ibulayimu era eyeeyoleka wa njawulo okuva eri bakatonda abalala. Nga bwe mwakawulira, ekisuubizo ekyakolebwa eri Ibulayimu emyaka 4000 egiyise kityatuukilizibwa mu ffe olwa leero. Era naffe tujulira n’olwaleero butya erinnya lya Ibulayimu bwe lifuuse ely’ekitalo. Katonda waffe alina amaanyi okukuuma ekisuubizo kye obutakyuusiddwa okusuuka emyaka egyo 4000.

Lowooza ku oba eriyo katonda omulala nga Ye. Wali owuliddeko ku katonda omulala mu nsi eno ayogera eri omuntu,”Ndikuwa omukisa n’abazzukulu bo okumala emigigi emingi – olw’omwaka gumu, ebiri, enkumi ssatu “? Naye Katonda ono eyalabikika Ibulayimu yakola endagaano naye emyaka 4000 egiyise era endagaano eyo etuukilizibwa n’eri ffe mu budde buliwo. Kya mazima ye Katonda ow’amanyi ag’ekitalo. Era tuzze okumanya nti katonda ono alina obuyinza ku bulamu. Oyo gw’ogezaako okukilirizaamu mu kujja mu kkanisa ya Yesu. Naye Yesu ono yafa. Yafiira mu mikono gy’abantu. Yayiwa omusaayi gwe ku musalaba era n’afa. Naye Katonda yamuzuukiza eri obulamu. Tukkiriza ekyo. Ye katonda alina obuyinza ku bulamu.

Era asobola okutwala okuva mu kintu ekitaliiwo n’akikozesa nga ekibaddewo. Okugeza, Omulabirizi waffe Omukulu yalina obumanyirivu ebbanga eddene eliyise. Yasabira omulwadde omuyi eyalina kkookolo w’amawuggwe era omulwadde n’awonyezebwa ddala. Yateleezebwa nate. Yali asobola n’okudduka mu mpaka nga omuntu omulamu. Olw’ekyo, yakkiriza nti amawugwe ge gaali gawonyezebbwa ddala. Naye oluvannyuma ennyo, yagenda mu x-ray, era mulowooza nti amawuggwe ge gaavaayo nga malamu mu x – ray? Mu x-ray, amawuggwe ge gaalabika nga bwe gaali emabega luli lwe yalina kkookolo. Kyaalinga nti amawuggwe ge gaali tegakolerako ddala. Naye omuntu ono yali assa mu kaseera ako. Yaali mulamu okumala emyaka oluvannyuma lw’ekyo. Katonda asobola okukolesa ekitali nga nti ekiliwo. Eky’ennaku, oluvannyuma lw’okulaba ebifaananyi bye ebya x ray, omuntu ono yatandika okulowooza, “O! Silina mawuggwe yadde! Ekyo kitegeeza nti sisobola kussa!” era embeera ye neyeeyongera okwonooneka. Bwe kityo, okukkiriza kwaffe tekuli ku kulaba embeera z’omubiri bye tusobola okulaba, wabula okumanya Katonda waffe kyaali. Kiri ku kukkiriza ekyo katonda, gwetukolagana naye, ky’ankolera.

Mazima, katonda waffe ye omu gwetutasobola kusanga mu nsi eno. Yalabikila Ibulayimu emyaka 4000 egiyise era n’agamba, ” Ndikufuula omukisa!” era kati, emyaka 4000 oluvannyuma, tuli mu kujulira ekisuubizo ekyo. Katonda ono kennyini ajja gyoli okuteekawo endagaano. Obulamu bwaffe obw’okukkiriza buli ku kuteekawo endagaano ne katonda. Y’ensonga lwaki kikulu okwekebejja n’obwegendereza ki katonda ono kyaali. Bwe tugula yinsuwa, ffena tusoma ebiwandiiko ebirungi mu ndagaano, si bwe tukola? Naye, twanditwaala yinsuwa nga tulowooza nti yaayo yonna ey’omugaso, kyokka okuzuula oluvannyuma nti waliwo obukwakulizo obutali bulungi mu biwandiiko ebirungi. Bw’ozuula, kiba kikeerezi nnyo okusazaamu endagaano, era okomenkelera offiriddwa okusasula kwonna kw’obeera okoze. Y’ensonga lwaki tuteekwa okusoma n’obwegendereza amateeka n’obukwakulizo era kyokka kussaako omukono ku ndagaano bwetukakkasa nti kye kigambo kyaffe. Ekyo si kituufu?

Mu ngeri yemu, tetusobola kusigala nga tugenda mu kkanisa”. Mu kusooka, oyinza okujja nga ogoberera ow’omukwano. Naye kati olina okussayo omwoyo eri Katonda ono ayagala okuba n’enkolagana ey’okumpi naawe era okuzimba endagaano naawe, era okutegeera kiki kyaali. Okuva nga ogenda kukola endagaano ne katonda oyo, olina okunyumirwa by’akuwa era mu kadde ke kamu, olina emirimu emituufu egy’okukola mu maaso ge. Era kino kye wetaaga okwekebejja n’obwegendereza.

Bwe yakola endagaano ne Ibulayimu, waaliwo obukwakulizo ku njuyi zombi. Katonda kye yayagala okuva eri Ibulayimu kyaali kino: “Va mu nsi yo, ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga”. Ekyo kye Katonda kyeyasaba okuva eri Ibulayimu. ‘Ensi yo, ekika kyo n’ennyumba ya kitaawo’. “Ensi yo” etegeeza ettaka lye yali abeeramu. Ekifo kye yali amanyi obulungi ennyo, era ettaka kweyalimiranga. “Ekika” kitegeeza amaka n’ab’eŋŋanda ze beyali okumpi ennyo, abo abamukuumanga, abo abamuyambanga bwe yali nga talina ssente oba emmere, n’ebirala. Era “ennyumba ya kitaawo” kitegeeza olunyiriri lwe, eby’obuwangwa n’ennono z’ekika kye. Mu kukola okusalawo kwonna, yagobeleranga ekyo kitaawe kye yamusomesa. Olw’ekyo, kyategeeza okuva ku nnono ezo zonna, empisa, n’emisingo gye yali amanyidde, okugenda “mu nsi gye ndikulaga!” Mu bigambo ebirala, yagambibwa okugobelera ebilagiro bya katonda ono. N’olw’ekyo, bwe tujja okuba n’okukkiriza ne tuzimba endagaano eno ne Katonda, kitegeeza nti tetugenda kuddamu kubaawo okusinziira ku kwagala kwaffe naye okugobelera okuluŋŋamizibwa kwa Katonda.

Bw’ojja mu kkanisa era n’oteeka omutima gwo okkukiriza mu Katonda oyo, tekitegeeza nti ojja kusigala obaawo okusinziira ku kwagala kwo era ofune bufunyi obuyambi okuva eri katonda oyo. Kitegeeza nti ogenda kugobelera era okole ekyo Katonda kyakulagira okukola. Awo, katonda asuubiza okukusanyusa n’okukuwa omukisa, era okweyongerayo, abantu bangi baliweebwa omukisa okuyita mu ggwe. Olw’ekyo tusobola okulaba nti waliwo obuvunaanyizibwa eri enjuyi zombi. Katonda ono ajja kutuwa omukisa, afuule amannya gaffe ag’ekitalo, era abantu bonna ku nsi baliweebwa omukisa okuyita mu ffe. Naye olwa ekyo okubaawo, tulina okuwuuliriza ebilagiro bya katonda era obutaddamu kwesigama ku kumanya kwaffe n’ebyo byetwaateekangamu obwesige. Kiri ku kukola nga Katonda ono bw’atugamba.

Olw’ensonga eno, Abakristaayo babeerawo mu ngeri ey’enjawulo ku ngeri abantu ab’ensi okutwaliza awamu gye babeeramu. Waliwo enjawulo nnyingi naye mu nkomerero, zino enjawulo zituleetera mirembe. Okugeza, ka tugambe nti omuntu mu maka go alina ebizibu ebimu, nga nti tebasobola kufuna mulimu. Abatakkiriza mu mbeera eno babeera beelalikirivu nnyo. Beelalikilira nti bayinza obutafuna mulimu era n’olw’ekyo tebasobola kufumbirwa, era batandika n’okwelalikikira ku biseera byaabwe eby’omumaaso bwe baliba nga bakaddiye. Olw’okubanga beelalikilira ku bintu bino ebiri mu maaso g’obudde, banoonya ku bimu ku bigonjoola mu kunoonya obuyambi okuva eri ab’emikwano oba ab’eŋŋanda. Banoonya engeri ezimanyikiddwa eri bo. Mu kukola ekyo, bayinza okutandikawo bizinensi egwa obubi era ne bakomenkelera nga basanze ebizibu ebisingako obubi.

Naye olwa ffe Abakristaayo, ekizibu bwe kigwaawo, tetunoonya ngeri za kukigonjoolamu ku lwaffe; mu kifo ky’ekyo, tugobelera okuluŋŋamizibwa kwa Katonda. Tufuba okukola ekyo Katonda ky’atulagila okukola. Olw’ekyo, tusaba okusinziira ku ngeri Katonda gy’ayoleseza eri ffe. Era tunoonya ki Katonda ky’ayagala okuyita mu Bayibuli awo ne tukigondera. Era bwetukola ekyo, tufuna eby’amagero ebinene, ebyewuunyo, n’ebintu ebyewuunyisa. Oliwulira ennyo ku bintu bino okuva eri abayambi abakwetoolodde era n’okuva eri ab’ekkanisa. Waliwo bingi ebyewuunyisa, byombi ebinene n’ebitono.

Kasita osembera okumpi ne Katonda ono era n’omugobelera, ajja kukuyisa mu ngeri eno. Okuva nga weetaaga okuteekawo endagaano, wandyetaaze okwekebejja n’obwegendereza katonda ono ye ani. Tekiteekwa kuba nti osigala nga tomanyi Katonda ono n’oluvannyuma lw’okujja okumala wiiki ennyingi oba nti ojja buzzi olw’okubanga oyagala embeera ya wano. Wetaaga mu mpola mpola okuzuula era ojje okumanya Katonda ono kyaali. Tojja kusobola kumanya byonna omulundi gumu. Olina okumanya mu mpola mpola ebisingako awo ebikwata ku Ye. Olwa kino, ojja kwetaaga okusoma Bayibuli, era bw’onosanga ekintu kyonna kyotategeera, wetaaga okubuuza ebibuuzo. Mu ngeri eno, olina okumanya mu bwangu katonda ono kyaali.

Bwe tutunuulira ekitundu kyokka ekya Bayibuli, kisoboka okuleetawo obutategeragana ku katonda. Olw’ekyo, waliwo engeri entuufu ey’okusomamu Bayibuli, era nja kuba mbayigiriza ku ngeri y’okusomamu Bayibuli. Okuyita mu Bayibuli, ojja kumanya Katonda ono, era mu kukola ekyo, ojja kuba nga osobola okufuna obumanyirivu mu ye nga omuntu. Awo ojja kujulira eby’amagero n’ebyewuunyo ebibaddewo, era ojja kutandika okuwulira nga nti obulamu bwo busaana kuddamu okubeerawo. Ebintu ne bwe bifuuka bikalubo bitya, elyo essanyu mu mutima gwo telilibula. Ojja kulaba ebintu ebyewuunyisa ddala era eby’amagero abatakkiriza mu nsi bye batasobola kutuuka ku bumanyirivu. Era bino byonna byebazibwa eri Katonda ono.

Era ono ye ye gwetuyita Katonda. “Katonda, njagala kussaawo endagaano nawe! Era njagala kukuuma endagaano eyo. Bwe kityo, bambi beera katonda wange! Nja kukugobelera! Tuukiriza ebisuubizo byo gyendi!” Mbawa omukisa mu linnya lya Yesu nti mulijja okuba n’omutima guno. Nja kusaba.

< Essaala >

Katonda Kitaffe, newankubadde nga bayinza okuba nga tebamanyi Katonda bulungi nnyo, ka bakkirize okuyitibwa kwa Katonda okubeera abalamu nawe katonda. Tusabira emyoyo gyonna egiri wano, kuba obayise. Bayambe okutandikana n’olwa leero olw’ekyo nti basobole okumanya Katonda ye ani okusingawo mu buziba okusingawo okugazi. Era yamba abayambi baabwe. Era emyoyo gino ka gifuuke abantu ba Katonda abamanyi Katonda era abakola endagaano ne Ye okubeera ne Katonda emirembe gyonna. Era bayambe okufuuka abaana ba Katonda abagabana mu kitiibwa kya Katonda kyonna. Mu linnya lya Yesu. Amiina.

Omusumba Ki-Taek Lee
Dayirekita w’Ekifo ky’Obuminsani ekya Sungrak