Okukkiriza Okulina Obujulizi (Olubereberye 17:1-8)
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda (99) Mukama n’amulabikira n’amugamba nti, ” Nze Katonda Omuyinza w’ebintu byonna; tambuliranga mu biragiro byange obeerenga mutuukirivu. Ndikola naawe endagaano, era ndikuwa ezzadde lingi.” Ibulaamu ne yeeyala wansi ku ttaka, n’asinza Katonda. Katonda n’amugamba nti, “Laba, nkoze endagaano naawe. Oliba jjajja w’amawanga amangi. Erinnya lyo terikyali Ibulaamu nate, naye erinnya lyo linayitibwanga Ibulayimu; kubanga nkufudde jjajja w’amawanga amangi. Ndikuwa ezzadde lingi, era olivaamu amawanga ne bakabaka. Naanywezanga endagaano gye nkoze naawe, era n’ezzadde lyo eririddawo, okuba endagaano eteridiba emirembe gyonna. N’abanga Katonda wo, era Katonda w’ezzadde lyo, ensi eno mw’oli. Ensi yonna eya Kanani eriba ya zzadde lyo emirembe gyonna, era nze nnaabanga Katonda waabwe.” (Olubereberye 17:1-8)
Ekyawandiikibwa kyewakasoma leero kivudde mu Olubereberye 17:1-8, era kiri ku Ibulayimu. Mbaddenga njogera ku Ibulayimu olwa wiiki nnya eziyise. Ibulayimu wa mugaso nnyo gyetuli mu bungi buti. Omuntu akyasinzeeyo obukulu mu nzikiriza yaffe mu butonde ye Yesu Kristo. Kyokka ensonga lwaki Yesu Kristo yakolimirwa yali lwakutuwa omukisa, era omukisa ogwo guyitibwa omukisa gwa Ibulayimu. Kino kitegeeza nti ekisuubizo Katonda kye yakola eri Ibulayimu naffe kituweeleddwa. Katonda kyeyasuubiza okukolera Ibulayimu, Ajja kukikolera naffe abakiliriza mu Yesu. N’olwekyo, bwetwetegeleza n’obwegendereza ekisuubizo Katonda kye yakola ne Ibulayimu, tujja kujja okumanya obulungi ekyo kyetulina okufuna okuva eri Katonda.
Abantu bangi babuzabuziddwa ku bulamu bwaabwe obw’okukkiriza. Emu ku nsonga eya kino eri nti Bayibuli kitabo kinene nnyo. E Bayibuli elimu ebintu bingi nnyo nti ku biseera ebimu, ebimu bilabikanga ebikontana ne binnabyo. Bwetuba nga tetwekakasa ku ki kyetulina kukola, eky’okukola ekisingaayo obulungi kwe kutunuulira ebyo ebisookerwaako, ensonga enkulu ye eluwa. Tusobola okuzuula nti omukisa Katonda gwaali okutuwa okuyita mu Yesu Kristo mukisa gwe gumu gweyasuubiza edda eri omuntu ono ayitibwa Ibulayimu. N’olwekyo, kya mugaso okwekebejja ki Katonda kyeyagamba era kyeyasuubiza eri Ibulayimu.
Tuli mukukozesa ekigambo “Katonda” (n’ennukuta ennene “K”), era ne Bayibuli ekolesa ekigambo ekyo mu ngeri yemu nga “katonda.” Olw’ekyo okukifuula ekyangu, katonda ow’ekika ekimu yalabika eri omusajja ono ayitibwa Ibulayimu. Era katonda oyo yasuubiza Ibulayimu, nga agamba, “Ndikola endagaano naawe! Kino kyenkuwa, era njagala ompe kino na kino.”
Era ekyawandiikibwa kyeyutunuulidde olwa leero kye ekigambo Ibulayimu kye yafuna bwe yali nga wa myaka 99. Bwe bwo Ibulayimu bweyasisinkana katonda ono ku myaka 99 egy’obukulu era katonda yali akakasa buto nate endagaano Ye ne Ibulayimu. Omulundi ogwasooka Ibulayimu bweyasisinkana katonda ono lwali bwe yalina emyaka 75. Oluvannyuma emyaka 25 nga giyise era nga alina emyaka 99, katonda ono yawa ebigambo bino byetusoma eri Ibulayimu, ebigatta awamu byonna ebisuubizo ebyamuweebwa.
Katonda yakola ebisuubizo ebinene bisatu eri Ibulayimu. Ekisooka, Yasuubiza ettaka lya Kanani, mu budde buliwo eliyitibwa ekitundu kya Palestiina awo Isiraeri w’eli nga eggwanga, okugamba, “Ndikuwa ettaka lino ggwe n’abazzukulu bo.” Eky’okubiri, Katonda yasuubiza, ” Ezzadde lyo liliba lingi nnyo nga emmunyeenye ez’omubbanga era nga omusenyu ogw’okulubalama lw’ennyanja!” Naye, Ibulayimu bweyalina emyaka 99, yalina abaana bameka? Teyalina mwana n’omu ne mukyala we. Yalina omutabani omu yekka okuyita mu muzaana we, naye Katonda teyagamba nti okuyita mu ye ezzadde lya Ibulayimu mwe liliva. Mu kifo ky’ekyo, Yasuubiza, “Okuyita mu mutabani azaaliddwa mukyala wo, abazzukulu bo mwe baliva, nga bangi nnyo nga emmunyeenye ez’omubbanga era nga omusenyu ogw’okulubalama lw’ennyanja! Mukyala wo y’alizaala omutabani wo.” Mu budde obwo, mukyala we yalina emyaka 75. Kyaawandikiibwa nti ensonga ze zaali zikomye era yali takyayinza kuzaala mwana. Naye Katonda yagamba nti alimuwa omwana okuyita mu mukyala we, era nti omutabani ono aliba n’abazzukulu bangi okufuuka eggwanga eddene. Eky’okusatu, Katonda yasuubiza, ” Ndibeera Katonda waabwe! Ndiba kabaka waabwe!”
Bino bye byaali ebisuubizo ebisatu. Mu bwangungu tteeka, ekisooka, Katonda yasuubiza okuwa ettaka. Awo n’asuubiza okuwa ezzadde. Era eky’okusatu, Yasuubiza nti alibeera kabaka waabwe era Katonda waabwe. Lekka tulowooze ku oba bino bisoboka oba nedda. Okusooka, mukyala wa Ibulayimu assusse emyaka egizaala. Naye Katonda yagamba nti ezzadde lya Ibulayimu liliba lingi nnyo nga emmunyeenye ez’omubbanga era nga omusenyu ogw’okulubalama lw’ennyanja. Okusinziira ku magezi amazaale, mu by’obulamu ne mu bya ssaayansi, ddala ekyo kisoboka? Tekisoboka? Tekisoboka. Omusajja nebwabeera nga ajjudde amaanyi, tekisoboka kuba na baana singa omukazi aba nga takyasobola kuzaala baana. N’olw’ekyo, kino ekisuubizo tekisoboka. Ekiddako, ekisuubizo nti ezzadde lya Ibulayimu lilitwaala ekitundu kya Palestiina era lilibeera mu ttaka elyo, ekyo kisoboka? Tekisoboka? Yee, tekisoboka.Ettaka eryo lusenyi kyerere? Nedda, amawanga mangi gaali gabeera mu ttaka elyo. Singa ettaka lyaali lya kuweebwa abazzukulu be, ekyo kitegeeza baali beetaaga okuba abangi ennyo okusobola okuliwangula Naye, Ibulayimu bw’aba nga talina batabani wadde, abazzukulu be basobola batya okuwamba ettaka? Bwe kityo, n’ekisuubizo kino tekisoboka. Era ate kyo ekisuubizo eky’okusatu? Katonda yagamba, “Ndibeera mu bo era ndiba Katonda waabwe!” Katonda ayinza atya okuba Katonda waabwe nga “bo” tebaliiwo n’okubaawo? N’olw’ekyo ekisuubizo eky’okusatu nakyo tekisoboka.
Mu bigambo ebirala, katonda ono yalabikila Ibulayimu era n’amuwa bingi ebisuubizo ebitasoboka. Naye omusajja ono ayitibwa Ibulayimu yakkiriza ebisuubizo bino n’agobelera katonda ono okumala emyaka 25. Oluvannyuma ennyo, yandilowoozeza,”O, mbadde nlimbibwalimbibwa!” Naye, yali amaze okuteekamu bingi nnyo nga tayinza kutambula kubiviira. Yali agobeledde okumala emyaka 25. Oluvannyuma lw’okuva mu nsi ye, yayita mu kugesezebwa kungi. Yandyagadde ebisuubizo ebyo okuba eby’amazima, naye tewaaliwo nnyo nsonga yonna kwe yandibilowoolerezza okuba ebituufu; Kati, tukkiliriza mu katonda nga ono. Mu ngeri emu, twandilowooza ‘Ddala katonda ono gwetukkilirizaamu si mulimba?’
Olw’ekyo awo lekka tukebele ekintu kimu. Waliwo engeri yonna eyokukebelamu oba ebisuubizo bino bituufu oba si bituufu? Waliwo engeri yonna Ibulayimu gy’asobola okulabilamu ebisuubizo ebyo nga bituukilizibwa? Ezzadde lye bweliba nga ligenda kubeera lingi nnyo nga emmunyeenye ez’omubbanga era nga omusenyu ogw’okulubalama lw’ennyanja, ogwo omuwendo gwandiba mu bukadde, si kyo? Gusobola okuba enkumi z’obukadde. Ibulayimu yandilabye ezzadde lye nga lifuuka lingi lityo mu kiseera ky’obulamu bwe oba nedda? Ekyo nebwekyandibadde kya kubaawo, yandibadde mulamu okumala bbanga ki okusobola okulaba ekyo n’amaaso ge? Yandibadde yeetaaga okubeera omulamu okumala emyaka 1000 oba 2000 okukilaba nga kibaawo. Bwe kityo, tewaliiwo ngeri yonna ey’okukakasa ekisuubizo ekyo mu kiseera ky’obulamu bwe.
Waliwo engeri yonna gy’asobola okukeberamu ezzadde lye elingi nga liwamba ettaka elyo? Kisoboka? Nedda, tekisoboka. Tasobola kulaba ekyo nga kibaawo. Era asobola okukakasa nti katonda ono anaabeera mu makati g’ezzzadde era abeere kabaka waabwe? Asobola oba tasobola? Tasobola. Ebisuubizo ebileteera abantu okuwuulira obuzito by’ebyo ebisuubiza ebitasoboka. Tekisoboka kubikkiriza. Okweyongerayo, Ibulayimu talina ngeri yonna ey’okukakasa oba katonda ono alikoka ebintu bino oba nedda. Mu butuufu kye kimu n’okumuwa ceeke etaliiko kintu kyonna . Tewaliwo bwetaavu okusanyuka olw’ebisuubizo bino kubanga tebisoboka ngeri yonna era tebisoboka kukakasibwa.
Omanyi butya bwekiri? Lekka tugambe nti nkola ekisuubizo gyoli. Ndi musumba era mutabani wange oluvannyuma alikula era awase. Awo mu kutebeereza yandiba n’omwana owuwe alibeera omuzzukulu wange. Lekka tugambe nti mbasuubiza nga ŋŋamba, ” Ndi mukusabira omuzzukulu wange okufuuka CEO wa Samsung.(kkampuni ekola amasimu n’ebyamasanyalaze ) Era nkakasa nga ajja kubeera ekyo! Ku lunaku olwo lw’alifuuka CEO. Ndi gulira buli omu ku mmwe emmotoka empya!” Wandisanyuse okuwulira ekyo obe nedda? Oli musanyufu? Singa nnali, sandisanyuse. Ekisooka mu byonna, tekilabikabga nti omuzzukulu wa Musumba Ki-Taek Lee alifuuka CEO wa Samsung. Ye ate, ndibeela mu nsi eno mu kiseera ekyo? Sijja kuba osanga. Olw’ekyo, kiringa nti ndi mukuwaayo ceeke ya bbanka etaliiko kintu kyonna. Silowooza nti abantu bangi bandikyamuse okuwulira kyennakava okwogera. Bandikyisekeledde busekelezi.
Mu ngeri y’emu, Katonda ono bweyasuubiza ebintu bino eri Ibulayimu, omuntu owa bulijjo yandibadde amala kuseka ku nsonga eyo. Naye Ibulayimu mu bya ddala yabikkiriza era n’amugobelera. Singa okukkiriza kwe kwaali kukomye awo, singa okukkiriza kwaffe kukoma awo, tekyandibadde na mugaso era Mu bwereere. Sandyetaaze na kubazzamu amaanyi okugobelera Katonda ono wadde okumusinza. Naye awo Katonda n’akola ekisuubizo ekirala eri Ibulayimu bwe yali nga wa myaka 99. Tekili mu ssuula eno gyetusoma, naye kye yasuubiza Ibulayimu eyali ow’emyaka 99 kyaali kino: ” Mu kadde nga kano omwaka ogujja, oliba n’omwana. Mukyala wo alizaala omutabani.” Naye bwetutunuulira ekisuubizo kino, yagamba Ibulayimu nti aliba n’omutabani. Ekyo kisoboka? Tekisoboka, si kyo? Omulundi gumu neera, tekisoboka. Olw’ekyo, tewalina kubaawo nsonga yonna okusannyukira ekyo.
Kyokka ekintu kimu kisoboka. Ibulayimu yali asobola okwekebera. Ddi lweyasobola okukikebela? Mu budde nga obwo omwaka ogujja, yandisibodde okukakasa oba ekisuubizo kyaali kituufu oba nedda. Olw’ekyo, omwaka ogwaddako bwe gwajja era omwana n’amuzaalibwa ye, ye yali asobola okukakasa nti ekitasoboka kyaali kibadde. N’olw’ekyo, yakakasa, ” O newankubadde nga ebisuubizo bye bilabika nga ebitasoboka, mazima ddala bituukirira!” Naye singa omwaka ogujja gwajja era mukyala we n’atafuna mwana, awo yandikakasiza nti Katonda ono yali amulimbye okumala emyaka 25, era mu nkomelero yandisobodde okuviira Katonda oyo.
Olw’ekyo Ibulayimu yatandika okulinda okuva mu budde buno mpaka. Eri ye, omwaka ogwo ogumu gwaali gwa mugaso nnyo. Kiki kyeyalinga atunuulira bulijjo? Buli lunaku, buli lweyaddanga awaka, olowooza kiki kyeyatunuuliranga mu kusooka? Olubuto lwa mukyala we – lwakulanga oba nedda? Oluvannyuma lw’emyeezi 6, lwandikuze, si kyo? Naye era, teyandyekakasiza. Yandikakasiza atya oba olubuto lwa mukyala we lwaali lukula kubanga mwaalimu omwana munda oba lwa bukadde? Naye omwaka gumu oluvannyuma, mukyala we ayitibwa Sara mu bya ddala yazaala omwana, omutabani. Ekitasoboka kyabaawo awo mu maaso ge. Kino kya ddala. Mu bya ddala kyabaawo. Olw’okubanga yalina omwana oyo, omutabani oyo oluvannyuma yalina abaana, era nebafuuka eggwanga lya Isiraeri lye tumanyi olwa leero. Tetuli mu kwogera ku kirooto. Buno bwe butya Isiraeri bwe yajja. Ibulayimu yalina Isaaka, era mu batabani ba Isaaka ababiri, abazzukulu ba Yakobo baakula okukola eggwanga lya Isiraeri lyetulaba olwa leero.
Bwe kityo, kyaali kikakatako nti yajulira okutuukilizibwa okw’ekyo ekyaali kitasoboka. Lwaki? Ojjukira ebisuubizo ebisatu ebirala ebitasoboka? Ekisooka, “Ndikuwa ettaka lino.” Eky’okubiri, “Oliba n’ezzadde lingi.” Eky’okusatu, “Ndiba Katonda waabwe.” Kiiki ekyandibadde olw’ebisuubizo bino ebitasoboka? Byandituukilidde oba nedda? Yee, yali afunye obujuluzi nti bilituukilizibwa. Yafuna obujulizi. Abantu bandibanga basekelera Ibulayimu okumala emyaka 25, nga bagamba nti, ” Lwaki ogobelera katonda ono ow’ekisiru? Katonda wa kika ki asobola okukufuula eggwanga eddene? Ayinza atya okukuwa omwana nga mukyala wo tasobola kufuna baana yadde? Era kisoboka kitya nti amawanga gonna galiweebwa omukisa okuyita mu ggwe? Era Katonda ono, Omutonzi w’eggulu n’ensi, ayinza atya okubeera naawe? Oli mulalu? Tolimbibwalimbibwa? Ennyumba ya kitaawo wagilekera bwerere!” Oyinza okuteebeereza butya bwe kyaali kiruma eri ye abantu bwebayogera ekyo?
Olw’ekyo, yandyetaaze obujulizi. Era ku nkomelero, bweyalaba mutabani we nga azaalibwa, yafuna obujulizi era yali mukakafu: ” Kyonna Katonda ono ky’ayogera kituukilira! Kyalabika nga ekitasoboka naye kyabaawo!” Newankubadde teyalaba ebirala nga bibaawo mu maaso ge, Ibulayimu yakkiriza. Kyaalinga nti yali abilabyeeko n’amaaso ge. ” Ezzadde lyange liliba lingi nnyo nga emmunyeenye ez’omubbanga n’omusenyu ogw’okulubalama lw’ennyanja! Newankubadde nga amawanga amalala gabeera mu ttaka lya Kanani, ezzadde lyange oluvannyuma liliwamba ettaka elyo!” Yalina kuno okkukiriza. Yakkiriza, “Katonda alibeera mu masekkati gaffe n’ezzadde lyaffe era aliba Katonda waffe! Alitukulembera!”
Katonda era yayogera gyaali, “Bakabaka b’amawanga baliva mu ggwe! Era mu zadde lyo mulivaamu omu alitwaala wankaakyi ez’omulabe!” Ibulayimu yali akakasa nti Omulokozi alinunula abantu alijja okuyitira mu zadde lye. Era olw’obukakafu bwe, kino kituukilizibbwa eri ffe olwa leero. Yesu Kristo yajja nga ezzadde lya Ibulayimu ne Dawudi, era okuyita mu Ye, tufunye omukisa gwa Ibulayimu. Bwebwo butya omukisa bwe gwajja ku ffe. Katonda yasuubiza Ibulayimu, “Ndiba nabo era ndibeera Katonda wabwe!” Ekisuubizo kituukilizibbwa ku ffe ffena. ” Ndibeera nawe era ndiba Katonda wo!”
N’olw’ekyo, ekiruubirirwa ky’enzikiliza yaffe ku nsi eno. Bwe bwakabaka bw’eggulu, obwakabaka obutaggwaawo. Bwe tugenda eyo, tetujja kuba nga tuseeyeya buseeyeya nga emizimu egitalina mibiri. Tujja kugenda eyo mu ngeri y’omubiri. Tegujja kuba mubiri ogukoowa oba oguvunda, naye tuliba n’omubiri ogutavunda. Kizibu kya kukkiriza, si kyo? Kizibu nnyo n’okuteebereza kino. Kizibu lya kutebeereza nti omuntu abeera omulamu n’oluvannyuma lw’okufa, era nti omuntu talifa wabula alibeera mu Ggulu. Kyokka kino si enzikiriza etategeerekeka era etategeerekeka bulungi.
Yesu bweyatusuubiza kino, Yatuwa ekisuubizo kye tuyinza okukakasa kati. Kye ki ekyo? Yagamaba, ” Bwe ndigenda ewa Kitange mu Ggulu mu maaso gammwe, Ndisaba Kitange era nsindike Omwoyo Omutukuvu gye muli!” Kino kitegeeza nti alituma Omwoyo wa Katonda eri ffe. Yasuubiza nti Omwoyo Omutukuvu bw’alijja, Alitukulembera mu mazima gonna, atuyambe okutegeera ekigambo kya Katonda, era aliyoleka eri ffe ebyaddala eby’omwoyo. Newankubadde nga tulinnyumirwa obulamu obutaggwaawo oluvannyuma lw’okuzuukira mu Ggulu, okufuna Omwoyo Omutukuvu tekuliba mu ggulu. Tumufunila wa? Wano, nga tukyaali ku nsi. Bw’aba nga Katonda taliiyo era nga teliiyo kuzuukira, tetwandifunye Mwoyo Omutukuvu oba. Naye Katonda bw’aba nga gyaali, Yesu ali mu ggulu, era n’okuzuukira kwa ddala, awo naffe tufuna Omwoyo Omutukuvu nga tukyaali ku nsi. Y’ensonga lwaki, mu linnya lya Yesu era olw’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, tugobera ebweru badayimooni, tuwonya endwadde, era tukola buli kika ky’ebyamagero ku nsi.
Mu ngeri yemu, enzikiriza yaffe ey’Ekikristaayo ye emu elina obumanyirivu n’obujulizi, Si kintu ekitategelekeka nti tukimanya lwokka nga tumaze okufa. Tetulina kusooka kufa okusobola okumanya ki enzikiriza eno ky’eliko. Okuyita mu nzikiriza eno, tusobola okufuna obujulizi nga tukyaali ku nsi. Buli omu, bwoba nga tolina bujulizi obukwatagana ku Katonda, awo ne bwobanga ogenda mu kkanisa ne kati, wandidda mu nsi oluvannyuma era ofiirwe okwagala eri ekkanisa. Wandigenda mu kkanisa olw’emyaka ebiri oba essatu naye awo n’ovaamu nga ogamba, ” Mmaliddwaamu nyo amaanyi!” Olina okuba n’obujulizi. Wetaaga okuba n’obujulizi obutayuugayuuga. Oteekwa okufuna obumanyirivu mu bitasoboka nga bibaawo mu maaso go ekyo kye, ekisuubizo kya Katonda nga kituukilizibwa.
Olw’ekyo, obulamu bw’okukkiriza si bulijjo nti kuseeyeeya okuseeneekerevu. Olina okufuba okufuna obumanyirivu mu kigambo. N’olw’ekyo, wetaaga okukola kaweefube. Olina okusaba. Olina okusaba ebitasoboka. Era n’olw’ekyo, olina okuba n’obumanyirivu. Bwoba nga olina obulwadde, oteekwa okusabira ekyo okuwonyezebwa. Omulabirizi waffe omukulu yali kumpi okufuuka omuzibe ku kadde akamu. Nzijukira nnamusisinkana omulundi ogwasooka, era omulundi ogwaddako bwe nnamusisinkana, yali tasobola kunzijukira. Mu kusooka, nnalowooza nti teyali mulungi mu kujjukira feesi z’abantu. Olwo lwaali obwo bwe nnadda mu Korea oluvannyuma lw’okuweereza nga omuminsani mu China. Nnagamba eri ye, “Nakakomawo okuva e China.” Era n’ambuuza, “Oli mesenguse omuchayina?” Yambuuza ekyo omulundi ogwaddako bwe nnamusisinkana. Olw’ekyo, nnalowooza nti kyaali lwa kubanga yasisinkananga abantu bangi nti yali tasobola kujjukira buli omu. Naye nnakizuula oluvannyuma nti okumala ebbanga eggwanvu, yali asembeledde okufiirwa okulaba kw’amaaso ge. Naye yasaba. Yasabira ekyo ekyalabika nga ekitasoboka kubanga abasawo baali baamugamba nti tekilisoboka kuwona. Yateeka omutima gwe n’akisabila okumala omwaka gumu, era olunaku olumu, nga bweyali abuulira, yatandika okulaba bulungi okuva mu maaso mpaka emabega. Kubanga yali nga talaba bulungi, omuntu omulala ye eyasomanga ekitundu. Era yaseeleranga n’agwa emirundi mingi olw’okubanga teyasobola kulaba. Kyokka, yasabika ekitasoboka. Yeekwata ku kisuubizo kya Katonda. Era kati okulaba kw’amaaso ge kuddizibbwaawo. Kati alaba bulungi nnyo.
Tusobola okuba n’obujulizi bungi nga buno okuyita mu bulamu bwaffe bwonna. Oteekwa okuba n’obujulizi bungi nga buno olw’ekyo nti abantu ne bweboogera ki, asobola okubagamba, ” Nsinsinkanye Katonda!” Bw’ogenda mu makanisa amalala, ojja kuwulira nnyo abantu nga batera okwogera, “Nzikiliriza mu Katonda! Nzikiliriza mu Yesu!” Naye, mu kkanisa eyaffe, ojja kuwulira abantu nga bagamba, “Nsisinkanye Katonda!” Nnasisinkana Katonda mu 1992. Tugamba nti tusisinkanye Katonda.
Byaddala tusisinkana Katonda. Si njogera ya kwatula ya ludda lumu yokka, “Nzikiriza! Nzikiriza!” kiri ku kuba n’obumanyirivu. Kiri ku kuba n’obujulizi. Mbawa omukisa mwena mu linnya lya Yesu okusisinkana Katonda mu mazima. Nja kusaba.
< Essaala >
Katonda Kitaffe, yamba buli muntu wano mu mazima okusisinkana Katonda omulamu. Ekyo ka kifuuke obumanyirivu obw’amaanyi era obujulizi obw’essubi elitaggwaawo Katonda ly’asuubizza. Nga bakyaali ku nsi, bayambe okuba n’obujulizi obw’amazima nti waliyo obwakabaka obw’eggulu era nti tulizuukira era tugabane mu kitiibwa ky’Omwana wa Katonda Kitaffe. Mulinnya lya Yesu. Amiina.
Omusumba Ki-Taek Lee
Dayirekita w’Ekifo ky’Obuminsani ekya Sungrak