Ensulo y’Emikisa (Lubereberye 12:1-3)

Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti,”Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya Kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga. Ndikufuula eggwanga eddene, era ndi kuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe; nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n’oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby’omu nsi mwe biriweerwa omukisa.”(Lubereberye 12:1-3)

Ekyawandiikibwa kye tusomye olwa leero kivudde mu Lubereberye 12:1-3. Muwulidde eri ani Katonda gwe yali agamba? Yali omusajja ayitibwa Ibulayimu. Kyaali mu kifo kati ekiyitibwa Iraq emyaka nga 4000 egiyise nti Katonda yalabikila omusajja Ibulayimu era n’ayogera ebigambo bino:”Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya Kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga. Era beeranga omukisa ggwe!” Katonda kiki kyeyagamba IbuIayimu ky’alibeera? Omukisa. “Era bw’olibeera omukisa,ne mu ggwe ebika byonna eby’omu nsi mwe biriweerwa omukisa.” Kino Katonda kye yasuubiza.

Omuntu ono mukulu nnyo. Tukiliriza mu Yesu era tuweereza Katonda, era omusajja ono ayitibwa Ibulayimu wa mugaso nnyo eri enzikiriza yaffe. Nteebereza wali osomyeeko endagaano empya. E Bayibuli ekolebwa endagaano enkadde n’endagaano empya. Endagaano empya etandika n’enjiri ya Matayo, si bwe kiri? Linnya ki ery’omuntu alabikira mu lunyiriri olusookera ddala olw’ekitabo ekisooka eky’endagaano empya. Wagamba,”Ekitabo eky’okuzaalibwa kwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu.” Ibulayimu ayogerwaako.

Tetukiriliza mu Ibulayimu. Enzikiriza yaffe kwe kukiliriza mu Yesu Kristo n’okusinza Katonda. Naye, omusajja Ibulayimu alabika nga omukulu ennyo. Kino lwakubanga byonna byetunyumirwa mu Yesu byasuubizibwa dda Katonda eri Ibulayimu emyaka 4000 egiyise. Tubeera mu Seoul, era wano tubeera mu bulamu bwaffe obw’okukiriza, naye buli kimu kyetunyumirwa kati kyasuubizibwa dda omusajja omu lwa Katonda emyaka 4000 egiyise. Era ekisuubizo ekyo kitukilizibwa gyetuli kati. N’olw’ekyo, bwe twekebejja obulungi ebisubizo ebyakolebwa eri Ibulayimu, tusobola okujja okumanya mu ngeri etegeerekeka obulungi kiki kye kiri kye tunyumirwa.

Omusajja omulala ayitibwa Pawulo naye alabikira mu ndagaano empya. Mu bbaluwa ze yawandiika mulimu ebbaluwa ewandiikiddwa eri abantu mu kitundu ekya Ggalatiya. Ekitundu ekya Ggalatiya mu buli buliwo ye Buturuuki(Turkey). Oluvannyuma nga Yesu alinnye mu Ggulu amakkanisa gakolebwa, waliwo amakanisa mangi mu kitundu ekya Buturuuki. Era mu mabaluwa geyawandiikira eri ezo ekkanisa mulimu ebbaluwa gyeyawandiika eri Ggalatiya eli mu kitabo ky’abaggalatiya. Mu bbaluwa eyo egamba,”Kristo yakolimirwa.” Ye mutabani wa Katonda. Tukiriza nti Yesu ye mutabani wa Katonda. Mu bigambo ebirala tumukilirizaamu nga omu eyenkana ne Katonda. Naye kigambibwa nti Yesu yali akolimiddwa. Lowooza ku ekyo. Ye oyo gwetukilirizaamu era Ye mukolimire.

Olw’ekyo lwaki yali akolimiddwa? Kika kya kikolimo ki kye yayitamu? Yesu yafa ku musalaba. Mu biseera ebyo, omusalaba gwali gukolesebwa obwakabaka bya Rooma mu ngeri esinga obukambwe ey’ekibonerezo ky’okufa. Okujjako abamenyi b’amateeka ab’obukambwe, bangi tebakomererwa. Okweyongeraayo, omuntu eyasalirwa ekibonerezo ky’okukomererwa teyatera kukubwa. Kye kyaali ekibonerezo ekiddaako ekizibu. N’olw’ekyo, bwe babonerezebwa, tekyaali kya bulijjo omuntu okugumira byombi okukubwa emiggo era n’okukomererwa kubanga okukubwa kyokka kyali kitera okuleka omuntu nga afuddeko ekitundu era obwenyi bwe nga tebumanyikikwa. Newankubadde nga Yesu bamukuba emiggo okutuuka ku ssa erisukkiridde, tebamatira; ekyavaamu, n’okumukomerera ne bamukomerera, ekyaviirako okufa kwe.

Yesu gwetukilirizaamu nga bwe tumanyi kati agulumizibwa nga mutabani wa Katonda. Naye; bwe yajja ku nsi, yakolimirwa. Lwaki yayita mu kikolimo nga kino? Kyaali nti bonna abayudaaya, abazzukulu ba Ibulayimu, era n’abamawanga nga ffe okusobola okufuna omukisa nga ogwo. Ekikontana n’okuwa omukisa kwe kukolima. Era ekikontana n’okukolima kwe kuwa omukisa. N’olw’ekyo, ensonga lwaki Yesu yakolimirwa yali kutusobozesa okufuna emikisa. Bwe kityo, bwe tukiliriza kati mu Yesu, ye ffe ab’omukisa.

Ensi eyogera ku ‘mikisa etaano’, kituufu? Ogumu gu gino kwe kubeera n’amannyo amagumu era amalamu obulungi. Naye n’amannyo agasingaayo obugumu tegalibeera na mugaso bwe tuliva mu nsi eno. Okwefaananyirizaako, abazzukulu baffe ne bwe banagaggawala batya,mu nkomerero, bonna baliva mu nsi eno. Naye, omukisa gwe tufunye, omukisa Katonda gw’ayagala okutuwa, teguli nga egyo emikisa egy’ensi egisiwuukaawo wabula omukisa ogutaggwaawo. Era kilabika nga omukisa guno tegwategekebwa katonda mu kusooka olw’abantu, wabula olwa mutabani we, Yesu. Gwali mukisa ogwategekebwa mu bwabaka obutaggwaawo. Era atuwadde naffe ogwo omukisa.

Mu kigambo kimu, ogwo omukisa guyitibwa omukisa gwa Ibulayimu. Tukyogerere wamu? “Omukisa gwa Ibulayimu!”

Omukisa guweeredwa Katonda. Era kwaali kuyitira mu Yesu nti yatuwa omukisa. Wabula, teguyitibwa buyitibwa mukisa gwa Katonda oba nga omukisa gwa Yesu Kristo. Mu kifo ky’ekyo, gwayitibwa omukisa gwa Ibulayimu. Kino kiri lwakubanga omukisa gwasigibwa nga ensigo mu nnimiro eyitibwa Ibulayimu. Ennimiro eyo yali njimu. Ekyavaamu, ensigo bweyasigibwa mu nnimiro eyo, ebibala bingi byavaamu. Ettaka bwelibeera ebbi era ne likala nga enkokoto, ensigo ne bwezandisigibbwa, zandilemeddwa okubala ebibala. Naye, Ibulayimu yakiriza era n’agondera ekigambo – ekisuubizo – Katonda kye yali amuwadde, olw’ekyo obutawanika bwe bwaleteera okuzaalibwa kw’abazzukulu bangi. Ku nkomerero mutabani wa Katonda Yesu Kristo yazaalibwa mu lunyiriri lwa Ibulayimu, era bwe kityo, omukisa Katonda gwe yali asuubiza eri Ibulayimu guzze gye tuli nga bwe kiri.

Ngabanye ebintu bingi leero, naye mujjukire kino kyokka. Kati tuli bamukisa mu Yesu. Guno omukisa gwa lubeerera, era guyitibwa ‘Omukisa gwa Ibulayimu’. Kati, bambi muddeemu oluvannyuma lwange:’Omukisa gwa Ibulayimu!”

Eno y’ensonga lwaki Ibulayimu alina enkwatagana ey’okumpi ennyo ku ggwe. Tolina kwelowoozaako nga,”Mbeera bubeezimu Seoul mu kyaasa ekya 21 era guno gwe mukisa gwe nfunye”. Mu kifo ky’ekyo, tegeera nti kino ekisuubizo kyakolebwa eri Ibulayimu emyaka 4000 egiyise era kyeyongeddeyo mpaka okutuuka ggwe.

N’olw’ekyo, kya mugaso okwekebejja n’obwegendereza Katonda kye yasuubiza Ibulayimu. Kubanga ekyo ekisuubizo kiri mu kutuukilizibwa mu ffe leero. Kye njagala okuggumiza leero kye ekyo Katonda kye yagamba,”Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya Kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga. Era beeranga omukisa ggwe” kiki kye yagamba ky’alifuuka? Alifuuka ensulo y’emikisa. Eno y’enjawulo makati ga Ye ne bakatonda abangi mu nsi eno.

Waliwo bakatonda bangi mu nsi muno. Era wandibanga osisinkanye bakatonda bangi nga tonaba kujja mu kkanisa eno. Myaka mingi emabega, omuntu gwe nali manyi yakyaalira wofiisi yange ku lunaku nga enkuba ettonya. Lwali lwakubiri. Namubuuza,”Wazze otya ekkubo lyonna okutuuka wano? Tewagenze kukola?” Era n’ayanukula, “Mukwano gwange yaŋŋambye nzijje.”  Mu kwaagala okumanya, nabuuza, “O, mukwano gwo ali wa?” Yagamba nti mukwano gwe azze na ye. Olw’ekyo, namugamba aleete mukwano gwe munda naye naŋŋamba mukwano gwe yali yayingidde dda. “Nsonyiwa? Mukwano gwo ali wa?” namubuuza. Yagamba nti mukwano gwe yamuli ku mabbali. Kyazuuka nti omuntu ono yali ayogera eri daayimooni. Amakya ago, yali azze ekkubo lyonna okutuuka ku woofiisi yange kubanga mukwano gwe oyo yali amugambye.

Nga bwetwayogera, nagamba,”O, mu butuufu eyo dayimooni. Esigala ekugoberera n’okukulagira n’ekulagira okukola ebintu. Nga bwe waliwo bakatonda bangi mu nsi eno, kikulu obutakola mukwano n’oyo katonda ow’ensi eno. Mu kifo ky’ekyo, fuula Katonda mukwano gwo. Yesu yajja mu nsi munno era n’afuuka mukwano gwaffe. Yatuluŋŋamya eri okuweereza Katonda. Katonda oyo asindika omwoyo omutukuvu olw’ekyo nti kati omwoyo wa Katonda, si dayimooni, abeera mu muntu. Ye mwoyo omutukuvu. N’olw’ekyo, ke kaseera okukyuusa mukwano gwo!” Bwe nali nga nkyayogera, dayimooni yeelaga mu ye era n’agwa wansi. Bwe namala okumusabila, yazuukuka asobeddwa, nga abuuza,”Lwaki ndi wano?” Yali tasobola kujjukira ekyali kibaddewo okuva amakya ago.

Mu ngeri y’emu, abantu oba baagala oba tebaagala, bali wansi w’obufuzi oba okufugibwa bakatonda abamu, era abantu abamu bafuugibwa mu maanyi nnyo nti batuuka n’okufiirwa okutegeera. Bwe kityo, omwami ono teyali mu kufuga okw’endowooza ye okuva amakya ago; yali wansi w’okufugibwa kwa katonda oyo. Bakatonda nga bano banyooma abantu. N’olw’ekyo, bayingira abantu newankubadde nga tebayanirizibbwa, okutulugunya, okufuga, n’okubabonyaabonya.

Naye, Katonda gwe tukilirizaamu era gwe tusinza – Katonda waffe wa kitiibwa nnyo. Tasala nsalo awatali kwagala kwo. Tajja kwekkaka ku muntu yenna atamwanirizza . N’olw’ekyo, tulina okubikkula emitima gyaffe bugazi ne tumwaniriza nti asobole okuyingira. Kyokka okuggulawo obugguzi emitima gyaffe si kikakafu nti ajja kuyingira mu ffe. Lwaki? Kubanga okuleka bakatonda abalala mu nsi eno, Katonda ono mutukuvu. Mutukuvu era mulongoofu era n’olw’ekyo ayingira mu abo abalongoofu. Bwe kityo, okujjako nga omwoyo gw’omu gulongooseddwa, tebasobola kufuna Katonda. Kyaali lwa kutukuza myoyo gyaffe nti Yesu yagumira ekikolimo. Yasasula omuwendo gw’ekibi. Buli omu akkiriza kino alilongoosebwa mu mwoyo. Tekyetaagisa kwogera eri abo ababatizibwa era abagattiddwa ddala ne Yesu, omwoyo gwaabwe gulongooseddwa. Ekivaamu, omwoyo omutukuvu agenda mu muntu era ne bafugibwa omwoyo omutukuvu.

Naye, bakatonda ab’ensi eno bagamba mu ngeri eno,” Ndi kuwa omukisa!” Beewozaako,”Nsobola okukuwa omukisa!” Mumanyi bulungi abasamize? Bakola obulombolombo bw’abasamize era n’okulagula, boogera nti bali mu nkwatagana ne katonda. Era omusamize agamba ,”Nja kukuwa omukisa!” Bagamba nti basobola okuwa abantu omukisa. Naye, teri n’omu ku bakatonda bano eyali agambye nti,”Olibeera omukisa(ensulo y’omukisa).” Nga bwe bayinza okugamba nti basobola okuwa omuntu omu omukisa, teri n’omu agamba nti “Olibeera omukisa okuyita mu ggwe abalala ba mukisa.”

Kyokka Katonda ono, Katonda eyasooka okulabikira Ibulayimu, yagamba,”Ndikufuula omukisa (ensulo y’emikisa)! Era okuyita mu ggwe abantu bonna baliweebwa omukisa!” Bano abantu tebakoma ku abo abali okumpi, si ne ku abo abali mu kyaalo kye, era si kukoma ku abo abali mu mawanga ag’obuvanjuba obw’omu makkati, olwokubanga yali ava mu kitundu ekyo. Amawanga gonna, abantu bonna emitala w’ensi baliweebwa omukisa okuyitira mu ye. Abantu ab’obudde bwe si be bokka abalibeera ab’omukisa wabula n’abo abalibeerawo oluvannyuma lwa ye, oba myaka lukumi, emyaka enkumi bbiri, enkumi saatu oba nnya! Kino ky’ekisuubizo Katonda kyeyasuubiza eri Ibulayimu.

Emabega ko awo, najuulira embeera endala etawaanya. Baali bagalana abaddukanyanga bizinensi. Omwami n’omukyala baali baalwana mu ntandikwa bwe batandika bizinesi eyo naye mu nkomerero bizinesi yabwe n’ewangula. Nga bizinesi bwe yali ekola obulungi baasaba abeŋŋanda zaabwe okukola nabo. Naye abeŋŋanda zaabwe abasinga baali Ababuda abagendanga mu Yeekaalu era n’abo abagobeleranga obusamize. Era abantu bano ne bagenda eri omusamize okulagulwa. Naye omusamize n’abatiisa nga agamba,”Bizinensi eno ejja kugwa mu bwangu.” Ne babuuza,”Tukole ki okusobola okutaasa bizinensi?” “Eriyo omuntu mu maka gamwe atali mu kukkaanya mu mwoyo. Omuntu oyo mumugobe ebweru era bizinensi yo elitaasibwa.” “Omuntu oyo ye ani?” Kyabaawo kityo nga ye mukyala w’omwami. Yali mukristaayo omunyiikivu bw’atyo. Era abasamize ne bagamba nti Ndi bawa omukisa sinhya mugoba omukyala ono. Kuno kwe kwaali okwagala kwa katonda ow’ensi eno. Kyaali kigamba,”Nja kubawa omukisa naye oteekwa okugattulula obufumbo ne mukyala wo!” Yayita mu biseera byonna ebizibu n’omwami we era enkanyanya ne zijja mu bweenyi bwe okulaga emyaka egyo gyonna egy’okukola ennyo. Naye kati nti bizinensi yali ekola bulungi era mu kulagula, katonda oyo assamu ekirowoozo kino mu mwami. “Mukyala wo mugobe, era oliba wamukisa!”

Wandyagadde okubeera okumpi ne katonda ow’ekikula kino? Buli omu oyagala okubeera okumpi ne katonda ow’ekika kino ekitasiima nti kizikiliza n’amaka? Bw’osigala okumpi ne katonda nga ono, ofuuka nga katonda oyo. Newankubadde nga omwami yali abaddeko mu kkanisa gye buyise, teyalina bulamu obw’okukiriza obuggwaanidde. Kyokka, teyali musajja mubi. Wabula, bweyasisinkana katonda oyo, ekirowoozo kyajja mu ndowooza ye ekyakula ne kifuuka ekibi ennyo oluvannyuma lw’akabanga. Mu nkomelero n’ayawukana ne mukyaka we. Yeegayilira mukyala we okugattulula obufumbo era bamala ne baawukana. Ekyo kibi kitya?

Wadde kiri kityo, Katonda gwe tusisinkana kati, Katonda eyalabikila Ibulayimu ye Katonda yennyini ow’ekika nga kino. Yagamba Ibulayimu, “Ndi kuwa omukisa naye omukisa ogwo tegulikoma ku ggwe wekka; olibeera ki okuyita mu mukisa guno? Olibeera ensulo ey’emikisa. Nga ekivaamu, okuyita mu ggwe, abantu ab’ensi zonna balibeera ab’omukisa. Buli gw’onosiŋŋana alibeera wa mukisa. Omuvuzi wa taakisi akuvuga aliba wa mukisa olw’okubanga ggwe; omusomesa anaakusomesa aliba wa mukisa olw’okubanga ggwe; banno bo ku mulimu baliba ba mukisa olw’okubanga ggwe. Era n’abantu mu mawanga amalala botanaba kusisinkana balibeera ab’omukisa olw’okubanga ggwe. Guno gwe mukisa gwe tufuna olwa leero. Era mazima, tufuuka ensulo y’omukisa mu ngeri eno.

Buli omu, osanga wazze mu kkanisa nga osuubira okufuna ekintu ekirungi. Era osobolera ddala okukifuna. Mu bya ddala, osobola okufuna ebisinga ku ebyo byewasuubira. Osobola okufunira wala ebisinga ku ebyo byewateebereza. Naye tekikoma awo osobola okufuuka ensulo ey’omukisa asobola okugabana ekyo n’abantu bangi. Kino kye kisuubizo Katonda kye yakola mu ntandikwa eri abo abalina omukisa gwa Ibulaayimu. Nti takoma kuba wa mukisa kyokka, afuuka ensulo y’omukisa.

Singa twetegereza bulungi okuviira ddala ku ntandikwa, tetugenda kuba mu  kukkaanya n’endowooza ya Katonda, era kino kiviirako obutakwatagana. Olw’ekyo, kakasa nti oli mu kutuunya ne Katonda okuva ku ntandikwa. Tewazze mu kkanisa nti ku lulwo wekka okubeera ow’omukisa. Okuyita mu ggwe, n’abo botomanyi baliweebwa omukisa.

Waliwo abantu abakulu bangi nnyo mu China abali okukuzibwa ekigambo okuva mu kkanisa yaffe. Amakanisa nga 150 gafuna ekigambo okuva mu kkanisa yaffe – bayiga era ne bayigiriza ekyo. Ago amakanisa 150 gatuweereza amabaluwa kumpi buli lunaku nga bagamba,”Mwebale kutuweerezanga kigambo buli wiiki.” Bawa omukisa Omulabirizi waffe, batuwa omukisa, abantu ba Sungrak, era ne bampa omukisa, nga abakolera omulimu guno. Ezo enkumi n’enkumi z’abantu baweereddwa omukisa okuyita mu nze. Baweeleddwa omukisa okuyita mu ffe. Baweeleddwa omukisa okuyita mu mulabirizi waffe. Mu ngeri y’emu, tufuuka ensulo y’omukisa era ne tuwa abantu bonna ku nsi omukisa.

Osobola okukola kye kimu. Newankubadde nga wazze mu kkanisa okusooka okufuna omukisa, naye tokoma awo. Mu linnya lya Yesu mbawa omukisa okubeera ensulo y’omukisa okuyitira mu mwe abantu bonna n’ensi zonna ziweereddwa omukisa. Nja kusaba.

Katonda kitaffe, kuva nga Katonda waffe agambye aliwa abantu bano bonna wano omukisa okufuuka ensulo y’omukisa, ka bafuuke ensulo y’omukisa olw’ekyo nti amawanga gonna ag’ensi gaweebwenga omukisa okuyita mu bo nga Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu. Mu linnya lya Yesu. Amiina!

Omusumba Ki-Taek Lee
Dayirekita w’Ekifo ky’Obuminsani ekya Sungrak