Okutwala Oluvannyuma lwa Katonda w’omu (2 Peteero 1:2-4)

Ekisa n’emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe. Kubanga obuyinza bw’obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby’obulamu n’eby’okutya Katonda, olw’okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw’ekitiibwa n’obulungi bwe ye. Mu byo mwe yatuweera ebisubizo ebinene era eby’omuwendo omungi ennyo; olw’ebyo mulyoke muwone okuzikirira okuli mu nsi okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwa Katonda bwe. (2 Peteero 1:2-4)

Obulamu bwaffe obw’enzikiriza nabwo buyitibwa obulamu obw’omwoyo. Ekigambo “mwoyo” kitegeeza nti kitonde ekitaggwaawo. Buli kimu mu nsi munno kiri mu kusiiwuukawo naye eriyo ebitonde ebiriwo  lubeerera. Mu nfunda eziwera, ebyo ebitonde tebisobola kulabibwa na maaso gaffe ag’omubiri era bwe kityo abantu balowooza nti tebiliiyo. Naye gyebili. Nga empewo bw’etalabika naye ya mugaso eri okubeerawo kwaffe, waliyo ebitonde eby’olubeerera era ebiteegaanibwa. Giyitibwa emyoyo.

Era okwefaananyilizaako, waliwo ekigambo kya “Katonda,” ekisonga ku myoyo egilina embeera z’obuntu. Abantu abatagenda mu kkanisa bategeera kino. Okugeza, bwe bakola emikolo gy’obwajjajja, bawandiika ku jibang “********” (Hak Saeng Bu Gun Sin We) ekitegeeza katonda alina embeera z’obuntu. Mu nsi eno eriyo ebitonde by’omwoyo bingi ebilina embeera z’obuntu, ebiyitibwa bakatonda. Newankubadde nga tebilabibwa maaso ag’omubiri, gyebiri era bifuga abantu okumpi ennyo. Omuntu ne bw’agamba nti tayagala kakwate konna ne bakatonda, ekyo mu bya ddala tekisoboka. Abashamani(abasamize) bwe balinyibwaako bakatonda, si nti bakyaagala kibe. Olw’okubanga balwala ne batya okufa, tebaba na kyakukola okujjako okulinyibwa. Bakatonda abo batuukirira omuntu ku ludda olumu okubeera na ye. Bajja unilaterally ne bagamba “Njagala kukukozesa!” Kyandibadde kikulu omuntu oyo singa abagobaganya naye olw’okuba tebasobola, bawanika buwanisi era ne babeera ne bakatonda abo.

Naye n’ekyo kisinzira ku katonda kika ki ye kyali. Eriyo ebika bingi ebya bakatonda. Bonna nabo balina embeera z’obulamu za njawulo. N’olwekyo kya mugaso nti oli kumpi ne katonda alina ekikula ekirungi , alina ebintu bingi, wa ssanyu era mulungi. Era nti ye Katonda gw’osobola okusisinkana mu kkanisa. Olwa leero Ssekukulu. Naye ani ku bakatonda abangi mu nsi munno eyasadaaka okuleeta ebirungi eri abantu? Kyokka nga katonda gwe ngezaako okubanjuulira ye katonda ono eyasadaaka okusobola okununula omuntu eyali abbidde mu kugwaamu amaanyi. Era lwaki yakola ekyo? Ekyo kye kikula kye. Buli katonda alina eneeyisa y’obuntu ya njawulo.

Manyi omuntu ono, omukulu wa Kampuni ne mukyala we. Bombi nabamanya bwe nali mu gwanga eddala olw’omulimu gw’obuminsani. Mu ntandikwa baddukanyanga akakampuni akatono mu Korea. Kampuni ye yakolanga plaster joint tape. Eno ye tape ekolesebwa mu fiirigi empya okuziyiza enzigi okw’eggula.  Yakolebwanga kampuni ya US 3M  naye emyaka nga 20-30 egiyise eggwanga lyaffe lyatandika okugikola. Era bizinesi ye yali ekkulakulanye era nga egikola. Omukulu ne mukyala we bayita mu mitawaana emingi okumala nga emyaka 10 okusobola okukola product eyo. Bayita mu kugezesebwa kungi era ensobi n’ensobi, olw’ekyo kyali kizibu nnyo gye bali. Naye bwe bakifuna, kyali buwanguzi bungi nnyo.

Olw’okubanga tebaalina bakozi bamala, bayita abeŋŋanda zaabwe okubakolera era bizinesi yaabwe n’ekula. Naye, abasinga ku beŋŋanda zaabwe baalina bakatonda baabwe be basinzanga. Era abeŋŋanda ne bateesa nti omukulu wa kampuni ne mukyala we bandikoze gosa(eby’ekika)-. Omukulu ne mukyala we bali bagenda mu kkanisa. Olw’ekyo olwasooka, bagaana okukola gosa naye abeŋŋanda zaabwe bwe balemelako nti balina okukikola, omukulu yasalawo,”Kaale tulikola gosa.” Bwe yeyongerangayo okukola ekyo, yalekela awo okugenda mu kkanisa era omutima gwe ne guyuuga. Olunaku olumu, yagenda okulaba omulaguzi. Yayagala okuzuula eby’omumaaso ebya bizinesi ye. Naye omulaguzi yamugamba,”Waliwo omuntu mu bizinensi ya famile yo agenda okuleteera bizinesi yo okugwa. Bw’otajjawo muntu oyo, bizinesi yo ejja kugwa! ” Osobola okutebeereza omuntu oyo y’ani? Mukyala we! “Okujjako nga mwawukanye na ye, bizinesi yo egenda kugwa mu bwangu gye bujja mu maaso eyo!” Omulaguzi bwatyo bwe yamugamba. Olw’ekyo ani eyali amubuulira ebintu bino? Gwali mwoyo (katonda) eyali munda mu mulaguzi. Oba kisoboka okubanga Katonda (omwoyo) ogwali ne oba munda mu mukulu era ogwali gumuwa akaseera akazibu.

Engeri yonna, ensonga yali nti yalina okwawukana ne mukyala we. Naye tekwali kusalawo kwangu kwa kukola. Kyamulumiriza kubanga yamanya emitawaama mukyala we gye yali ayiseemu. Kyokka abamwetoolodde tebasobola kulinda. Ab’eŋŋaanda ze bali bamugamba,”Mulina okugattululwa mu bufumbo mu bwangu! Oyagala okulaba bizinesi yo nga egwa?” Era mu nkomerero, yasaba mukyala we bayawukane. Olowooza mukyala we yawulira atya? Yali yassukka dda emyaka gy’obuvubuka era omubiri gwe nga mukoowu nnyo era obweenyi bwe ne bujjamu enkanyanya okuyita mu myaka. Kyokka nga ebintu bwe byali  bibateererera bo, n’amusaba okwawukana. Olw’ekyo yagaana nga agamba, “Nedda, sijja kugattululwa mu bufumbo!”

Yagumira okumala omwaka. Naye oluvannyuma lw’omwaka omu ku bo n’alwala. Olowooza ani eyalwala? Olowooza yali Omukulu oba mukyala we? Ntebereza ffena twagala abe omukulu. Naye olw’okubanga yali asaba okwawukana,butya omukyala bwe yanyiiga era n’anakuwala? Yalina okugumira ekyo era n’agumira obulumi ku mutima era ekyo ne kimuviirako okulwala era n’amenyeka. Yawulira nga anasooka okufa singa agenda mu maaso bw’atyo, olw’ekyo n’asalawo akkirize ekyo omwami we kye yali asabye era ne bawuukana. Era mu kumuddizaawo, yasasulibwa omuwendo omunene ogw’okusasula obuyambi bw’abafumbo (alimony) era n’ezo sente, kye yakola kwe kwewandiisa mu seminaliyo y’ebyeddiini. Oluvannyuma lw’amatikirwa, yagenda e Russia, n’afuuka omuminsani. Katonda amukozesa mu maanyi kati.

Waliwo ekintu kye tusobola okuyiga mu ky’okulabirako kino. Katonda oyo yali atya, oyo omukulu oba omulaguzi gwe yali na ye mu nkolagana ey’okumpi? Katonda oyo yagamba,”Ndi bawa omukisa! Ndi fuula bizinesi yo okubeera ey’amaanyi! Naye olina okwawukana n’omukazi oyo! ” Kino si kirungi, si bwe kiri? Kino kibi nnyo era kinyoomebwa, si bwe kiri? Tewali kusaasira. Ako ke kabonero ak’oyo katonda. Kyonna katonda oyo kyali, oyo ye Katonda alina empisa ezasoba. Bwe yakwatagana n’oyo katonda, kiki ekyatuuka ku mukulu? Yafuuka bwatyo naye ekisobyo era ekyo ekigwanira okuba ekikolimire.

Mu ngeri eno tutandika okutwala oluvannyuma lwa buli katonda gwe twesembeza . Tutwala oluvannyuma lw’embeera z’obuntu bwaabwe era ne tutambulira mu kkubo ly’obulamu ely’efaananyirizaako nga ery’abwe. Singa katonda oyo aba nga yakolimirwa era n’akomenkereza awantu awabi ennyo, awo omuntu eyali okumpi n’oyo katonda yandiyesanga mu kifo kye kimu. Olw’ekyo, Katonda ki gwe tusembeza nsonga nkulu nnyo. Okusinziira ku katonda ki gwe twemanyiiza, tusobola n’okufuna obulwadde. Omuntu bw’anywa ennyo, abantu bandigamba,”kiki ekikuyingiddemu?” Olowooza lwaki abatali bakkiriza boogera ekyo? Balina kye bawulira ku kkomo erimu. Ensonga lwaki omuntu anywa omwenge ennyo eri lwakubanga dayimooni entamiivu by’ekola. Bakatonda bayingira omuntu abefanaanyirizaako. Era ne bafuula embeera zaabwe okubeera embi ennyo okukirako awo. Olw’ekyo, dayimooni entamiivu erigenda mu muntu ayagala okunywa era n’emuleteera okunywa ddala. Dayimooni enyenzi egenda mu muntu omwenzi okubaleteera okwenda ddala.

Naye, katonda waffe, katonda oyo gwe tusisinkana mu kkanisa,ali atya? Asobola okunnyonyolebwa mu ngeri nnyingi. Mu kyawandikiibwa kye tusomye olwa leero, kigamba,” Oyo eyatuyita olw’ekitiibwa n’obulungi ” Ye Katonda ajjudde ekitiibwa. Ekitiibwa kisonga ku bintu ebikulu Katonda ono byalina. Era ekyo kisobola okunnyonyolebwa mu kigambo kimu. Ekitiibwa gwe mugatte ogwa byonna ebyewuunyisa era ebirungi.

Teyatuyita olw’ekitiibwa kye kyokka, naye era lugamba nti yatuyita olw’obulungi bwe. Obulungi! Obulungi kwe kwagala okugabana singa wabaawo ekirungi kyonna. Bw’atyo Katonda waffe bwali. Ebyo ebirungi ye byalina, ntegeeza bulamu. Buno obulamu tebugwaawo. Awo waliwo essanyu, era emikisa, amasanyu era obungi bwa buli kimu. Ayagala okugabana bino byonna naffe. Ajjudde obulungi. Ayagala bulijjo okuyiwa byonna byalina. Ku ani? Si ku abo bokka abamumanyi naye ku bantu abalala bangi, era ne ku abo abatamumanyi. Ayagala n’okugabana n’abantu abagala okumukola obubi. Kino ky’ekikula kya katonda waffe. Buli bwemba nina ekirungi, ekisooka okunzigyira mu bwongo ge maaka gange. Osooka kulowooza ku kitaawo oba abaana bo? Mu bulungi kilina kuba kitaaffe naye olwokubanga nafuuka muzadde nze kennyini, mu byaddala abaana bange be basooka okunzigyila mu bwongo. Era awo kitange. Oluvannyuma lw’ekyo, abantu abanetoolodde. Naye ky’ekyo. Mu bya ddala silina kwagala kubigabana n’abantu abankyaawa . Naye Katonda ono ayagala okugabana buli kintu ekirungi kyalina n’abo abatamwagala. Ayagala nabo bagabane mu ssanyu lye.

Kino ky’ekikula kya katonda waffe. Bwe kityo, abantu nga ffe twajja mu kkanisa ne tusisinkana Katonda ono, ne tufuna ebyo ebirungi okuva eri katonda ono. Era ne tujja okwagala katonda ono. N’olw’ekyo, tetusinza katonda ono mu kutya. Tufuna bingi okuva eri katonda ono era tumwagala nnyo nti tumusinza bwe tutyo. Olw’abantu abatanaba kumumanya, kibakalubiriza okujja okumusinza buli ku lunaku lwa Mukama. Naye, bwotandika okukolagana naye, ojja kutegeera nti eriyo bingi eby’okufuna okuva gyali. N’olw’ekyo, ojja kufuna obumanyirivu mu nkolagana eyo na ye era okumusinza si kizibu n’akatono, wabula essanyu elikyasinzeeyo ensi eno ly’esobola okutuwa.

Nga okyabeera mu nsi munno, tokwatagana na buli katonda yenna yenna wabula ne Katonda oyo eyawaayo mutabani we okutulokola, abonoonyi. Abantu bangi bafa era abalala tebamanyi wa emyoyo gyabwe gyegyasaasanira. Kyokka ffena tulizuukira, mu kwefanaanyirizaako Yesu eyazuukira era n’agenda wagulu mu ggulu.

Nga bwe nagambye, Katonda owaffe asobola okunnyonyolebwa mu ngeri nnyingi naye tusobola okugamba, ” Katonda eyazuukiza Yesu Kristo okuva mu bafu!” emyaka 2000 egiyise, Yesu yafa naye omuntu omu n’amukomyaawo mu bulamu. Okubeerawo okw’ekika ekimu okutalabibwa kwamuzuukiza mu bulamu era y’oyo Katonda gwetukilirizaami kati. Bwe tuba n’okukiriza kuno, awo obudde bwe bulituuka, alituzuukiza naffe okuva mu bafu, era atutwale okubeera naye eyo gyali.

Tabeera bubeezi Katonda ow’obulungi; wabula ate ye Katonda ow’amaanyi. Newankubadde nga gibadde enkumi n’enkumi gy’emyaka, akyakola omulimu gwe era akuuma ekisuubizo kye. Bakatonda ab’ensi eno tebasobola kukuuma bisubizo byabwe. Tebalina maanyi gakola ekyo. Kyokka Katonda waffe wa njawulo nnyo okuva gye bali. Ajjudde okusasira. Nsuubira nti naawe olisisinkana Katonda ono era omutwale okubeera omubeezi wo abeera naawe bulijjo, mukozi munno, era omukuumi wo abeerawo bulijjo okukukuuma. Mbawa omukisa mu linnya lya Yesu. Nja kusaba.

Katonda kitaffe, yamba buli omu ali wano okufuna mu Omu eyazuukiza Yesu Kristo okuva mu bafu nga Katonda waabwe era bamwagale era bamusinze. Mu linnya lya Yesu. Amiina.

Omusumba Ki-Taek Lee
Dayirekita w’Ekifo ky’Obuminsani ekya Sungrak