Okwagala Okw’Emirembe N’Emirembe (Omubulizi 3:11)
Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. (Omubuulizi 3:11)
Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo; era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bwatyo omuntu n’okuyinza natayinza kumanya mulimu Katinda gwe yakola ojuva olubereberye okutuuka enkomerero.
Najja okusisinkana Katonda mu Kkanisa ya Sungrak. Yali 1992 lwe nasooka okusisinkana Katonda era oluvanyuma, nagenda e China ku buweereza, okuva lwe nadda e Korea mbaddenga mpeereza mu kkanisa. Buli lwe bangamba okweyanjula, ntera okugamba,”Nsisinkanye Katonda.”
Bwe nali nga nkola nga omusajja w’omusaala mukama wange yampita. Yampita kubanga, bwe nali naakeyanjula nga omukozi omupya, nagamba,”Nasisinkana Katonda mu gwomunaana 1992″ era yalinga alowooza ku kyenayogera era nga ayagala okumbuuza kiki kyenali ntegeeza ne “okusisinkana Katonda”. Oluvanyuma, nawulira ku byayita bye nenzuula nti yali mumethodist okuva nga akyali muto. Yali mumyaka gya ataaano naye ku ye kyali kikyali kizibu bwenayogera nti nsisinkanye Katonda.
N’olwekyo namugamba,”Gyebuyiseeko, samanya Katonda, era olumu nali ku ludda luli olw’abawakanya Katonda.” Wawulirako omuwandiisi Do – ol Yong – ok Kim? Nali nsomye ebitabo bye okuva nga nkyali mu ssomero. Bwenabeeranga ku Yinivasite, nalina obutabo bwe bwonna e waka. Nabwegulira era nembusoma okuviira ddala nga nkyali mu ssomero, Wansi w’obuyinza bwe nagenda mu maaso n’okulowooza nti obukristaayo kyali kivve kya mubuntu. Nalowooza nti eddembe ly’ensi lyandijja singa obukuristaayo bugyibwawo ddala. Wavula okuyita mu bintu ebitali bimu na bimu, Katonda yantegeeza nti nali mwononyi. Era bwenafukamira mu maaso ge nenjatula,”Katonda, bwobanga ddala oli mulamu, neetaaga obuyambi bwo”, Byaddala yansisinkana. Ebigambo ebyasubizibwa mu bayibuli tezaali mbozi za dda. Nabilaba ebigambo ebyo nga bitukirizibwa gyendi. Muntandikwa, nali muntu eyalina omutima ogukalubizidwa, eyali ateesiga bigambo by’abalala mu bwangu. Naye okuva lwe nafuna obujulirwa, tekyali ku nze kugamba,”Nzikiriza mu Katonda”. Kye nali mazze okufuna tekyali ku kukiririza mu Katonda; nali mu byaddala nsisinkanye Katonda. Ne mufunamu obumanyirivu.
Omuntu omu singa ambuuza ku mukyala wange, nandisobodde okumwogerako olunaku lwonna. Kubanga namusisinkana. “Meere kyi mukazi wo gyayagala? Yeeyisa atya? Anyiiga ddi? Biki ebimusanyusa?. ” Nsibola okwanukula ebibuuzo ebyo byonna. Naye omuntu bwabanga yali agezaako okufuna obutuuze mu US(Amelika) okugeza, n’apaanga olukwe n’ omuntu omu okwefuula abaagalana, bandisobola okujjukira ebidibwamu basobole okwanukula ebibuuzo nga,” Omwagalwa wo kiiki kyasinga okunyumirwa? Mwe ababiri mwasooka kusisinkana wa? Era awo mu kubuuzibwa, bandisobola okwanukula ebibuuzo okumala eddakiika nga 20 oba omusobyo, naye tebandisobola kwogera okumala ebbanga ddene okusuuka ku ekyo. Okweyongerayo, enneyisa yabwe embi yandilabisibwa. Naye, bwetusisinkana Katonda, tetwetaaga kukwata kintu kyonna oba okuyiga ku kintu kyonna okukyogerako. Ye nno, okumanya ebisingawo ku Katonda twetaaga okuyiga ku bikulu ebisookerwako nti tusisinkanye Katonda.
N’olwekyo, mu linnya lya Yesu mbawa omukisa mwenna okusisinkana Katonda. Bwon’omanya Katonda, teri n’omu al’yetaaga okugamba,” Oteekwa okumanya Katonda! Manya Katonda. Kubanga gwe kenyini omusisinkanye n’omufunamu obumanyirivu. Omanyi omwana wo ssi kyo? Tewetaaga bujulirwa bwa muntu n’omu ku ekyo? Mu ngeri y’emu nsuubira mulisobola okusisinkana Katonda.
Mu byawandikibwa tusoma nti, kigamba ” atadde ensi* mu mitima gyaffe.” Emirembe gyonna. Twetaaga okusoma ekigambo emirembe gyonna. Kiwulikike nga ekyaddala gye tuli. Emirembe gyonna! Emirembe gyonna, naye tekimala. Emirembe gyonna Kiyina entegeeza y’emu ne ekitakoma era ekiwaanvu. Kyilina amakulu ge gamu agolubeerera. Mu bigambo ebirala, teri kkomo. Era bayibuli egamba nti Katonda atadde mu mutoma gw’omuntu okwagala okw’emirembe n’emirembe.
Bwe twazuukuse ku manya gano, ebirowoozo ebitabalidwa byayise mu ndowooza zaffe. Twabadde nera ne bye twagala ebyayise mu mitima gyaffe. Okugeza twabadde twetaaga okuzukuka ku maliili naye ne twagala okwebaka mu akatono. Naye ne tukiwangula ekyokuzuukuka ku makya. Era bwe nabadde nsinza mu savisi esooka olwaleero, bwabadde bunnyogovu. N’olwekyo, nalowoozeza,” Njagala kwambala ekijirikooti ekibuguma e bweru”. Era olw’ekyo ne nkyambala mu savisi. Ebirowoozo n’okwagala byeyongera okuyita mu mitima gyaffe ne mundowooza zaffe. Savisi olwawedde, nabadde nga nteeka emikono ku bantu olw’okubasabila, n’ olwekyo nabadde nina okukutama obudde bwonna. era omugongo gwabadde gunuma. Awo ne nelowooleza,”Singa nsobola okutuulako wansi nga kino kiwedde”. Oluvanyuma lw’ekyo olwokubanga bwali bukyali bunyogovu, kyanzijira mu ndowooza,”Siyagala Gimbap leero wabula ekintu ekyilina suupu ayokya. Oluvanyuma nayagala kaawa.
Mu ngeri eno, ebirowoozo bisigala nga biyita mu ndowooza zaffe. Era bwe tukilowoozako, Endowooza zaffe (omutima) tezawukanyizibwa ku mibiiri gyaffe. Omubiri gwaffe n’endowooza byakwatira wamu. Bwewaali nga tewali meere mu lubuto lwange, ekirowoozo mu bwongo bwange kyali,” Njagala kulya ekintu.” Omubiri gwange bwe gwawulira obunyogovu, Nalowooza “Njagala kubuguma.” Bwekityo, endowooza n”omubiri bibanga byonna bulijjo.
Nga bwe nannyonyodde ku kuwulira obunyogovu edda, kiiki ekituukawo bwobugumya omubiri gwo nga omaze okuwuulira obunyogovu? Osigala okyalina endowooza ey’okubuguma? Akaseera ako omubiri gwo we gubugumira, ekirowoozo kya “Njagala kubuguma” kibula.
Okuwa okugeza okulala, bwe nali mu majje nali nga nze GOP (ekifo ekyokwekaanya) mu Yeon – Cheon. Era mu butiti twali ku gw’ obukuumi nga tutunulira parallel eya 38. Tiimu emu yakolanga okuva ku 12 ez’ akawungeezi moaka mu matumbi ag’ekiro awi tiimu eyaddako okuva mu matumbi budde mpaka 12 ez’okumakya. Era mu ezo esaawa omukaaga, twalina okuyimirira mu kukuuma nga tutambula okuva mu kifo ekimu nga tudda mu kirala. Embuyaga yali nga ennyogoga nnyo ate nga obunnyogovu busse wansi wa diguli 25 eza celcious naye twalina okuyimirira tukuume nga tewali bibugumya wadde okwambala ekijirikooti ekizito. Mu kulinya ensozi, twatuyananga. Naye ku mulimu ogwokukuuma, entuuyo zikala. Era nga embuyaga bwekunta nga waliwo oluzzizzi ku mibiri gyaffe, kiwulikika nga enyogoga ennyo. Mu bunyogovu obwo, twalina okuyimirira okumala essawa era emibiri gyaffe gyakankana obudde bwonna. N’olwekyo, twagezaako okutambula okwetoloola nga bwe kyasoboka. Bwe nayimirira okukuuma okuva 12 mpaka 6, nayagalanga zibe 6. Era bwez’aba 12, nanaabanga agabuguma amangu ago, Nayagalanga nnyo ekyo. Olwamala okunaaba, nenfuna enjala. Awi nenyanguwa munda kubanga nayagala okulya ku bugaati bw’ebinyeebwa obuwooma nga sinagenda mu bulili. Kyekyo kyokka ekyandi ku bwongo. Kale, bwe nakomangawo okuva ku mulimu ogw’ okukuuma, nabuukirawo mu baafu.
Nembaako ne kyenategeera olwo. Mu saawa omukaaga eziyise, kyenayagalira ddala kwe kunaaba agabuguma. Nali nsubwa amazzi agabuguma. Naye olwamala okuyingira mu kinaabiro ne nteekako agabuguma, okwo okwagala kwabula mu butaweera dakiika emu. Ekirowoozo ku ekyo kyabulira ddala. Oluvanyuma lw’ekyo, saddamu na kulowooza ku kwagala kubuguma. Awo wenategeerera nti guno omubiri ogwaffe mwangu nnyo okusanyusa.
Ate era, olumwa nnyo enjala nga oli ku mulimu. Obugaati obwebijanjalo ebimyufu buyinza okuba nga busangibwa wonna wano, naye buwooma nyo nga omaze emirimu gyo mu majje. N’ olwekyo, ndowooza, “Njagala kulya ku bugaati obwebijanjalo ebimyufu n’amata mu bwangu” Naye kiki ekibaawo nga omaze okubulya? Ekirowoozo ku bbwo kibulira ddala. Kino kyewuunyisiza ddala.
Mu ngeri eyo emitima gyaffe myangu nnyo okusanyusa kubanga byonna bikwatagana ku mubiri. Emibiri gyaffe bye gyagala ssi bintu bya lubeerera. Emibiri gyaffe gyagala ebintu ebyangu ebigileteera okuwulira obulungi. Era omubiri gwanguwa okukkusibwa. Naye okwo okukkusibwa okwo tekulwaawo nakwo. Bwe namala okunaaba ku gabuguma ne ndya ku mugaati oguwooma nagenda okwebaka. Naye olunaku olwaddako bwe nali ku mulimu neera, okwagala okubuguma kwakomawo buto nate. Era okwagala kuno kukomawo neera neera ennaku 365 omwaka. Kwe kwo okwagala okwomubiri. Guno gwe mutima ogw’ennyama. Ebyo byetwagala ffe abalina omubiri. Tewali kabi mu ekyo. Kya bulijjo nti omuntu alina okwagala kuno kasita aba nga alina omubiri.
Lwakuba endowooza zaffe n’emitima bikwatagana mu ngeri eyo, ebyo emitima gyaffe bye gyegomba era bye gyagala bisoboka okufunibwa mu bwangu era ne bikkusibwa mu bwangu. Naye waliwo ekyamazima ekyitali kya bulijjo emabega wa binno. Kyewuunyisa nnyo. Era kiri nti tulina mu motima gyaffe okwagala okw’emirembe n’ emirembe. Twagala ebyolubeerera. Ssi kintu ekikkusibwa gye tuli olw’akadde akatono naye ekintu eky’emirembe n’emirembe. Twagala okuba n’essanyu naye kika ki eky’essanyu? Tagala ery’olubeerera essanyu. Kuno kwe kwagala kwetulina mu mitima gyaffe. Watya ate go amasanyu? Buli omu ayagala okuba omusanyufu lubeerera. Kyekimu n’ omukwano. Oyagala okwagalibwa? Oyagala okwagalibwa? Kika kya mukwano kyi kyoyagala? Ogwo ogumala emyaka kkumi? Teri n’ omu atinza kwelowooleza,”Njagala kwagalibwa emyaka kkumi gyokka”. Omuntu ne bw’aba nga alina emyaka 50 okuba omulamu, tagenda kulowooza “Njagala okwagalibwa okumala emyaaka 50″. Yand’yagaade okuba nga ayagalibwa lubeerera. Teri n’ omu ayagala kuba musanyufu emyaka ataano gyokka. Buli omu ayagala okuba omusanyufu lubeerera.
Kwe kuno okwagala okuva mu mibiri gyaffe? Kuva mu mibiri gyaffe kuno okwagala? Okwagala okw’emibiri gyaffe kwangu nnyo okukkusibwa; tegwagala kintu kyalubeerera. Byonna bye gw’agala ge mazzi agabuguma, omugaati, okuwumula okwebaka ko wansi n’ebirala. Naye waliwo okwagala okw’emirembe n’ emirembe mu mitima gyaffe. Tuyinza obutetaaga kugamba nti ,” Bambi moa omukwano ogw’olubeerera, mpa essanyu ery’olubeerera. Mpa amasanyu ag’olubeerera”, naye buli omu ayagala okubifuna. N’olwekyo, abantu bawulira okunyolwa bino bwe bitaba bya lubeerera.
Wandiba nga waliwo omusajja era n’omukazi abagalana enyo. Naye ka tugambe nti omu ku bo yakyusa omutima gwe. Ekyo bwe kibaawo oli omuntu omulala tayanguwa kuppowa, Lwaki? Kiiki kye yamusubiza? Beesubiza nti omukwano gwabwe gulibaawo lubeerera. N’olwekyo, oli omuntu omulala tasobola kukkiriza nti yye yakyusiza omutima gwe mu bwangu.Basobola okutamiira oli omuntu omulala ne bakola n’ ebyenkomeredde nga bagamba, ” Omukwano gwo gyendi bwe guba nga tegukyali gwa lubeerera, sijja kukkiriza omukwano ogwo oguwe omulala yenna.” Kuno kwe kufuba n’okugwaamu essubi okw’abo abalumwa era abayiyidwa oluvanyuma lw’ okuyayanira ekintu eky’ olubeerera.
Kati lwaki abantu bayaayanira eby’ olubeerera? Waliwo okwagala mu mibiri gyaffe okuyaayanira eby’olubeerera oba nedda? Tewali n’ okumu mu mibiri gyaffe. Omubiri y’ennyama. N’ olwekyo, kuno okwagala okw’ emirembe n’ emirembe kuva wwa? Lwakubanga waliwo ekitonde eky’ olubeerera munda mu ffe. Tulina okubeerwawo okw’ olubeerera munda mu ffe y’ ensonga lwaki tuyaayanira amasanyu ag’ emirembe n’ emirembe era n’ essanyu ery’ emirembe n’ emirembe. Olw’ okubeerwawo okwo okw’emirembe n’ emirembe, twegomba okufuna okwagala okw’ olubeerera. Newankubadde tuyiyibwa olw’ebyo bye tulaba kubanga okwagala ssi kwa lubeerera, waliwo okukaaba okw’ okuyayaana munda ddala w’ emitima gyaffe okugamba,”Bambi njagala lubeerera”.
Tujja mu kkanisa okusisinkana Katonda era n’ okumanya Katonda okuyita mu Yesu Kristo byonna kubanga twagala okufuna ekyo ekyolubeerera. Bw’obeera nga onoonya ekintu ekina kukkusa akaseera obuseera, oyinza okukisanga n’ ebweru w’ekkanisa. Mu kadde ke kamu, ayinza okufuna akalembereza aka ddala mu mit information ma olw’ okubeera wano.naye ako akalembereza ka lubeerera? Ka kaseera buseera awo ako akalembereza kasobola okukuweebwa e wantu wonna mu nsi. Naye, ka kaseera buseera ssi ka lubeerera. Naye kyoyinza okufuna mu kkanisa, kyekyo, Katonda kyasobola okukuwa kya mirembe na mirembe.
N’oluvanyuma lw’okuba n’enzikiriza mu Yesu, abantu abasinga basigala banoonya ebintu ebitali bya lubeerera eby’akaseera obuseera. Abamu ku mwe mwawulirako ababuulizi b’enjiri nga babagamba ebintu nga bino. “Kkiririza mu Yesu era bizinesi yo ejja kukula. Kkiririza mu Yesu era ojja kuba n’ebyobulamu ebirungi.Kkiririza mi Yesu era buli kimu kijja kulaba omukisa. Kkiririza mu Yesu era abaana bo balifuna omulimu omulungi”. Ka tugambe nti omwana w’omuntu omu teyayingizibwa mu mulimu omulungi. Newankubadde nga alabika okuba nga yasobola okufuna omulimu kati, oluvanyuma ennyo tekyadibeera kirungi gy’ali. N’olwekyo, okuva ku ekyo, abantu bandiba nga babadde basanyufu olw’akaseera akatono naye oluvanyuma ne bawulira nga bayiyibwa. Abantu mu Gwanga lyaffe bayiyidwa nnyo ennaku zino. Mu kadde akamu, buli omu yalinga musanyufu. Naye kati baweddemu amaanyi. Essanyu nga elyo teliwangaala. Ensi tesobola kuwa eky’olubeerera.
Naye ate, Katonda ye Ye agaba essanyu ery’emirembe n’emirembe. Kino kikakasibwa mu byaafayo by’ omuntu. Abakristaayo abakiririza mu Yesu mu budde buno bakkiririza mu kisuubizo kya Katinda kye yawa emyaka biina egiyise, era ne balaba nga ekisuubizo ekyo kitukirizibbwa gye bali. Era ne tuzuula nti tegyali myaka biina gyokka wabula mu mirembe n’emirembe egyayita nti Katonda yalina kyeyayagala era n’atukkiriza okukimanya.
Okussuka ko awo, tusobola okusigala nga tufuna ebisuubizo ebyo eby’emirembe n’emirembe okuva eri Katonda.
N’ olwekyo, buli omu, kubanga mwazze mu kkanisa, togezaako kukkusibwa n’ebyo eby’akaseera obuseera byoyinza okufuna mu nsi muno. Osobola okubisanga ne mu kkanisa okusobola okufuna akalembereza mu kkanisa, essanyu era n’amasanyu. Naye ate, ekisingila ddala okuba ekyomugaso ku ebyo kwe kufuna eby’emirembe n’emirembe — Essanyu ery’ olubeerera, amasanyu ag’olubeerera, emikisa egy’olubeerera, era n’ebyobulamu eby’olubeerera. Musobole mufune ebintu binno, mbawa omukisa mu linnya lya Yesu.
Ka nsabe.
Katonda kitaffe, tusabira emyoyo gino gyonna wano. Bawe ekisa kyo basobole okufuna eby’emirembe n’emirembe by’agaba Katonda. Era n’ olwekyo babe n’essanyu ery’ olubeerera. Nga Katonda bwali olubeerera omusanyufu era owemikisa, tuyambe naffe bwebatyo tube basanyufu lubeerera. Mu linnya lya Yesu. Amiina.
Omusumba Ki-Taek Lee
Dayirekita w’Ekifo ky’Obuminsani ekya Sungrak