Omukisa gwa Ibulaayimu (Abaggalatiya 3:13-14)
Kristo yatununula mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti: omukisa gwa Ibulayimu gulyoke gutuuke eri amawanga mu Kristo Yesu; tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky’Omwoyo olw’okukkiriza. (Abaggalatiya 3:13-14)
Ekitundu kye twakasoma kye Abaggalatiya 3:13-14 mu ndagaano empya. Tukisoma mu bwangu ddala, olw’ekyo muyinza obutakijjukira bulungi. Naye lugamba wano, “Kristo yafuuka ekikolimo ku lwaffe.” Kino kyandiwulikika nga ekitali kya bulijjo gyoli. Mu madiini amalala abo be bakkilirizaamu bateekwa kubeera ba mukisa, era balina obulamu obw’ekitalo era obw’ekyewuunyo ku nsi. Naye, oyo gwe tukkilirizaamu era gwe twesiga yajja ku nsi eno n’akolimirwa.
Waliwo ekintu ekirala ekitali kya bulijjo eky’okwetegereza. Nga omuntu eyaakawa obujjulizi bwe bweyagambye, Yesu bwe yava mu mazzi oluvannyuma lw’okubatizibwa, Katonda yagamba ku Ye,”Ono ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo!” Kyokka, okuva ku lunaku olwo mpaka, obulamu bwe bwaali bujjudde okuboonabona. Abantu bateera okulowooza, kisingako okuboonabona nga okyaali muto kubanga obulamu buliyanguwa oluvannyuma. Naye, olwa Yesu, tekyakola bwe kityo. Mu kifo ky’ekyo, Yaboonabona okutuusa ku nkomerero bwe Yakomelerwa ku musalaba era n’ayiwa omusaayi gwe era yafa okufa okw’entiisa. Kizibu eri ffe okutegeera. Y’ensonga lwaki abantu batwala Yesu nga omusajja owe Nazareesi, omusajja atalina makulu eyasalirwa ogw’okufa nga omwonoonyi lwa kkooti ya Rooma. Okuva obudde obwo, nga abamu bwe bakkiriza, nga Katonda gw’ajjulidde, nti Yesu ye mwana yekka owa Katonda era y’Omu Katonda gw’asanyukira ennyo, abalala bakuuma nti Yesu, newankubadde muntu mukulu, yasisinkana enkomerero ye mu kufa kwe nga buli omulala yenna. Okweyongerayo, bakkiriza nti ensi mbi nnyo okusobola okubaawo enkyukakyuka yonna eya nnamaddala ekiviirako obulamu obw’ekikolimo era ku nkomerero ne bulema, n’entegeka ze era n’ebirooto bye. Y’ensonga lwaki, ne leero, bantu bangi tebaagala Mukama waffe Yesu Kristo. Tebaagala n’abo abakkiliriza mu Yesu nabo.
Wadde kiri kityo, Katonda yakkiriza bino byonna kubanga waliwo enteekateeka ya Katonda era ekirooto Kye. Waliwo ensonga lwaki Katonda yakkiriza Yesu okuba wansi w’ekikolimo. Kiri lwakubanga waliwo omukwano gwa maama mu Katonda. Omukwano gwa maama guli bwe guti: ” Mwana wange, beera wa mukisa! Mmwana wange, ebintu byonna biligenda bulungi ku lulwo! Nja kugumira byonna ku lulwo. Bwe waba nga waliwo ekikolimo kyonna, nja kukigumira ku lulwo. Olw’ekyo obeere wa mukisa!” Guno gwe mutima gwa maama. “Mwana wange, lya bulungi! Kiri bulungi bwe nnumwa enjala. Kiri bulungi bwemba nga nina okusaasanya kitono. Naye ggwe saasanyiza ku kyonna kyewetaaga. Nze saasoma naye ggwe oteekwa! Nandibanga nnwaana naye ggwe olina okugenda ku Yunivasite!” Buno bwe butya maama bw’ayagaliza ebisingaayo olw’omwana we. Guno ddala gwe mutima gwa Katonda.
Yatuma omwana We, Yesu Kristo, gw’Ayagala era gwe Yesiga ennyo, n’ekilagiro,”Gumira ekikolimo ku lwa bo!” Katonda yamanya nti newankubadde bwe kityo, Yesu taligwa mu kikemo, okuwuliranga gwebayisiza mu ngeri etali ya bwenkanya, oba okujeema. Bwe kityo, Yatuma Yesu okufiira ku musalaba. Ku musalaba, waliwo omukwano gwa Katonda eri abantu era obwesigwa Bwe mu mutabani We. Watya nga omutabani omwagalwa yagaana okuwuuliriza ekigambo kya Katonda mu kaseera ako era mu kifo ky’ekyo n’agamba,”Nedda, saagala kufiira ku musalaba! Era laba abantu abo! Babi batya? N’okusiima tebasiima! Newankubadde baweebwa ekintu ekirungi ennyo, okusinga okusiima, banaasonga ennwe, bakolime, era bagambe Otuwadde ebintu ebitagasa!’ Butaba na mugaso butya bwe kyandibadde singa bakolimira Katonda nga bw’obawa ekirabo ekinene nga kino? Nedda, saagala kukola kino!”
Mu butuufu, nga Yesu tanafa, yasaba mu ngeri eno. ” Saagala kukolimirwa. Si ku lw’abantu abo. Sitegeera. Katonda, lwaki ondeka okuyita mu kikolimo kino olw’abantu bano abatasiima? Singa Kisoboka, toleka kino kujja ku nze!” Newankubadde yasaba Katonda teyakkiriza essaala ye. Yaleka buli kimu okubaawo. Singa kyaali kintu Omwana kye yandikiriza, yandisigadde asilise oluvannyuma lw’okusaba omulundi gumu n’okuwulira Katonda nga agamba,”Neera kikole” Naye olw’okubanga kyaali kizibu nnyo eky’okutegeera, Yasaba neera,”Bambi nzijjako ekikompe kino eky’obukaawu! Sisobole kukinywa?” Naye tewaaliwo kwanukulwa. Yasaba kye kimu omulundi ogw’okusatu. ” Bambi ka nneme kukola kino? Ddala wetaaga okukola kino okutaasa abantu?” Katonda yatunula ebbali. Kubanga yakimanya nti ddala kuno kwaali kwagala kwa Katonda, Yesu yayimuka n’agenda mu kifo abaserikale ba Rooma we baali balindiridde. Awo n’akwatibwa, n’abuuzibwa, era n’akomelerwa okufa. Kino Yesu kye yasalawo. Era kyaali ekyo Katonda ky’akkirizza. Mu ngeri eno, Katonda yakkiriza Yesu okukolimirwa, newankubadde yayagala Yesu. Olw’ekyo lwaki yaleka Yesu okukolimirwa? ” Nja kugumira ekikolimo!”. Era kiiki kye yagamba eri mmwe okufuna? “Mufune omukisa!” Ekyo Katonda ky’ayagala okuwa eri omuntu gwe mukisa gweyateekateeka mu butaggwaawo obuyise. Bwe kityo, abo abakkiliriza mu Yesu leero ba mukisa. Tukiliriza mu Yesu okubeera ab’omukisa.
Naye omukisa guno gwa njawulo nnyo ku mukisa gwetumanyi mu nsi. Mu byayita, bwewalinanga amannyo amagumu era amalamu obulungi, walowoozebwa okuba ow’omukisa. Naye tulifiirwa amannyo ago gonna olunaku olumu, si bwe kiri? Ennaku zino abantu bafuna ebiteekebwa mu mubiri. Ne bw’okola ki, tosobola kutwala kintu kyonna naawe bw’ova mu nsi eno. Abantu bagamba nti obuwangaazi mukisa naye nabwo tebusobola kusukka myaka 100. Emikisa egyo gyonna gilibulawo mu nsi eno.
Naye omukisa Katonda gwaali okutuwa tegulinga egyo; gwa lubeerera. Katonda atukoze nga ebitonde eby’olubeelera okusobola okutuwa guno omukisa ogutaggwaawo. Oyagala essanyu, buli omu? Era essanyu elyo olyagala okumala emyaka kkumi egijja gyokka? Nkakasa teri n’omu akyagala. Buli omu ayagala essanyu ery’olubeerera. Newankubadde obulamu bw’omuntu busobola okumala emyaka 70 gyokka, abantu abatamanyi ku butaggwaawo bagamba,”Njagala kuba musanyufu lubeerera!” Bagamba eri abo be bagala,”Honey, onjagala?” “Yye, nkwagala!” “Wandinjagadde lubeerera?” “Nkwagala lubeerera!” Naye bayinza batya okweyagala lubeerera? Bwe bakaddiwa, omu ku bo oba omulala alifa ne babeera nga baawukanyiziddwa lubeerera. Bayinza batya okwagala lubeerera? Newankubadde nga basuubiza batyo, tebasobola kukuuma kisuubizo ekyo. Wadde nga kiri kityo, twegomba okwagalibwa lubeerera.
Lwaki kiri kityo? Lwaki tweyongera okunoonya ebitaggwaawo? Kiri lwa kubanga ffe ffenyini tuli bitonde ebitaggwaawo. Ekyo kye, omutima – omwoyo mazima ddala biriwo. Bwe kityo, emitima gyaffe giyaayanira ebitaggwaawo. Gyagala omukwano ogutaggwaawo, newankubadde nga gyagalwa, era essanyu elitaggwaawo, newankubadde nga misanyufu. Katonda yekka y’asobola okutuwa ekyo. Essente tezisobola kutuwa ekyo eky’olubeerera, newankubadde abantu okutuwa essanyu ery’olubeerera. Katonda atuwa ebitaggwaawo. Bwe kityo, ne bwetuba n’emikisa, Alituwa omukisa ogutaggwaawo. Nolw’ekyo, agamba,”Nja kugumira ekikolimo, olw’ekyo nti musobole okufuna omukisa.”
Katonda awadde elinnya eri omukisa ogwo. Mu baggalatiya 3:14, Yaguyita nga omukisa gwa Ibulayimu. Tukyogerere wamu?
“Omukisa gwa Ibulayimu!”
Ibulayimu yali musajja eyabeerawo emyaka 4000 egyayita mu buvanjuba obw’omu makkati. Okusibuka okuva mu kati ekiyitibwa Iraq, oluvannyuma yadda eri ekitundu kati ekiyitibwa Palestiina. E Bayibuli eyogera ku ekyo nti Ye mukisa. Omukisa gwa Ibulayimu era Katonda yawa omukisa ogwo eri ffe.Nkolagana ki eri wakati w’omuntu abeera mu maselengeta ga Korea mu myaka egye 2000 ne Ibulayimu eyabeelawo mu buvanjuba obw’omu makkati emyaka 4000 egiyise? Naye waliwo akakwate. Ani Katonda gweyasooka okusuubiza okuwa omukisa, Katonda gweyayagala okutuwa? Yaali Ibulayimu. Era Ibulayimu yakkiriza. Abantu bangi bazibuwalirwa okubeera n’okukkiriza nga kuno. Kyokka ye bweyagambibwa,”Ndikufuula omukisa era olw’amawanga gonna ku nsi, abantu si be bokka ab’omulembe guno naye abantu bikumi era n’enkumi z’emyaka egilijja baliweebwa omukisa okuyita mu ggwe. Olw’ekyo, oteekwa okuva mu nsi yo!” Mu biseera ebyo, okuva mu nsi y’omu kyaali kya bulabe nnyo era Ibulayimu ye teyamanya wa gyeyaali alaga. Katonda yagamba,”Ndikukulembera. Olw’ekyo ggenda!” Nolw’ekyo omusajja ono yava mu nsi ye era n’agenda ekkubo lyonna okutuuka mu nsi engwira mu buvanjuba obw’omu makkati. Eyo yafuuka eggwanga eddene, era oluvannyuma lw’emyaka ebikumi egimu, omwana wa Katonda Yesu yajja ku nsi okuyita mu ggwanga elyo. Bwe kityo, okkukiriza kw’omusajja ono Ibulayimu butereevu kwa mugaso nnyo gye tuli. Aba kuba nga teyakiriza era mu kifo ky’ekyo n’abuusa amaaso ekigambo kya Katonda, tetwandifunye mukisa. Mukisa ki Katonda gweyasuubiza eri Ibulayimu? Guli nti Katonda alibeera na ye. “Ndiba naawe!” Nga bwetumukyikilira nga Katonda mu Bayibuli n’ennukuta ennene K, naye nga ye katonda omulala. Ekyo ka tukyogerere wamu?
“Katonda”
Olowooza nti waliyo bakatonda bangi mu nsi eno oba batono? Baliyo bangi. Abo abatera okugenda mu yeekaalu z’ababuda oba abeetaba mu mikolo gy’obusamize bayinzika nnyo okumanya kino. Waliwo bakatonda bangi. Naye ekibuuzo ekikukakatako kiri, ku bakatonda bano bonna, ani gw’onosalawo okubeera okumpi na ye? Waliwo enjogera: Nga taata nga omwana. Abatabani batwaala oluvannyuma lwa bakitaabwe. Era kye kimu ekisobola okwogerwa eri ensi y’omwoyo. “Nga katonda nga omuntu.” Abantu batwaala oluvannyuma lwa bakatonda baabwe. Katonda ki gw’okuumira munda mu ggwe? Okusinziira ku Katonda ki gw’obeera na ye, kisalawo omuntu wo, obulamu era n’entuuko. Y’ensonga lwaki tetulina kwesembereza Katonda yenna yenna. Abantu bakola obutemu. Naye bw’obabuuza lwaki bakoze ekyo, abamu bawa ensonga etali ya bulijjo. Abamu bagamba nti baawuulira amaloboozi. Baagambibwa okukikola. “Kwata ennyondo okole kino ne kiri!” Beewozaako nti baalagiddwa mu bulambulukufu ku ekyo eky’okukola. Omuntu teyategedde na wa ennyondo weyabadde okutuusa lwe yagambiddwa. Ebintu bino bibaawo mu byaddala. Basanze Katonda omukyamu. Nate, abantu abamu banywa omwenge mungi nnyo. Mu nnaku enkadde mu Korea, n’abo abataali bakristaayo baagambanga ku bantu nga bano,”Balina dayimooni entamiivu mu bo!” Bayogera ekyo si nti baali bamanyi ensi ey’omwoyo wabula bateebereza buteebereza nti y’eyo ensonga. Mu mazima, dayimooni eyagala omwenge bw’eyingira omuntu, batandika okunywa ennyo.
N’olw’ekyo ekibuuzo eky’omugaso kiri nti Katonda ki gwetwagala okubeera na ye. Katonda ono eyalabikila Ibulayimu si kumugamba kyokka,”Ndikuwa omukisa!” naye yagenda mu maaso okwogera nti,”Ndikufuula omukisa!” Eyo y’enjawulo okuva ku bakatonda abalala. Bakatonda abalala bagamba,”Ndikuwa omukisa!, Olw’ekyo limba eri omuntu omulala!” “Ndikuwa omukisa, olw’ekyo gattulula obufumbo!” “Ndikuwa omukisa, olw’ekyo kola obufere!” Naye Katonda ono yagamba,”Ndikuwa omukisa!” Kyokka tekyakoma awo. Yagenda mu maaso n’okugamba,” Wetaaga okufuuka omukisa. Wetaaga okufuuka omulandira, ekitanda ky’omukisa! Mu ekyo, abantu bangi babeere ba mukisa okuyita mu ggwe!” Kino ky’ekisuubizo kye yakola eri Ibulayimu.
Ibulayimu yakkiriza mu bujjuvu ekisuubizo olw’ekyo nti mu nkomerero Yesu Kristo yajja ku nsi eno, n’akolimirwa, era n’afa. Ekyavaamu, twafuna omukisa ogwo ogwasuubizibwa eri Ibulayimu. Katonda yali ne Ibulayimu era mazima yamufuula okuba omukisa, oguzze kati ku ffe. Ekisuubizo kye yakola kati emyaka 4000 egiyise kitukiliziddwa eri ffe oluvannyuma lw’emyaka 4000. Kino si kyewuunyo?
Kyetusobola okuyiga mu kino kiri nti Katonda eyakola ekisuubizo eri Ibulayimu abeerawo ekitono ennyo okumala emyaka 4000. Eno si y’ensonga ne bakatonda abalala. Omanyi bakatonda abo bebakolera emikolo gy’obusamize? Tebabeerawo okumala ebbanga eddene. Bandilabikanga abayamba ekitono, naye tekimalaawo bbanga ddene. Naye Katonda ono akuumye ebigambo bye n’okumala emyaka 4000 egiyise. Kizuuka abaddengawo okuva obutaggwaawo obuyise era alyeyongerayo mpaka mu biseera by’omumaaso ebitaggwaawo. Newankubadde, ye yye eyatonda eggulu n’ensi n’ebintu byonna. Ye ali, mu bakatonda bonna, omu mu ye temuli kitasoboka. Ayita ebintu ebitali nga bwe biri era n’abikozesa, era n’okuzuukiza azuukiza n’abafu.
Twagala okubeera mu nkolagana ne Katonda ono; guno gwe mukisa. Mu bigambo ebirala, okubeera ne Katonda eyalabikila Ibulayimu – okubeera obumu era okubeera ne Katonda ono. Abeera munda mu ffe, naffe tubeera munda mu ye. Bantu bangi bali mukutambula ku kkubo. Kyokka nga mu bo mulimu abantu abalina badayimooni ababeera munda mu bo, ku lwaffe, katonda waffe, oyo omu eyalabikira Ibulayimu, oyo omu eyazuukiza Yesu Kristo okuva mu bafu abeera munda mu ffe.
Ennyama yaffe olunaku olumu elifa. Newankubadde tufa okubeerawo kwaffe okugenda okuggwaawo emirembe gyonna tekulekebwa kubula, naye tuyimusibwa okuzuukizibwa. Atuzuukiza neera. Y’ensonga lwaki yasuubiza okubeera naffe lubeerera. Ye ffe abo abakakasa nti okubeera ne Katonda mukisa. Tufunye obumanyirivu mu kino. Bwe kityo, katonda ono bw’aba nange, nsobola okufuna obuyambi bwe nga ndi ku nsi. Abantu buli bwe balaba obuzibu, batera okunoonya obuyambi bw’abantu okusooka. Babuuza,”Osobola okumpolayo ku ssente?” Oba banoonya omuntu alina enkolagana asobola okuyamba. Naye, ffe abakristaayo tetukola ekyo. Bwetusanga okusomoozebwa, tulina omuyambi asingayo ali naffe, oyo alina omugongo gwaffe. Tusaba ku Katonda oyo. “Nnyamba! Neetaaga obuyambi bwo kati!” Olumu bwe tuyita ne mu buzibu bw’ebyenfuna, tusobola okumusaba,”Bambi gonjoola ensonga eno!” Era bwetuba abalwadde, tusaba,”Bambi nnyamba ne kino ekizibu!”
Alina omutima omunene. Olw’ekyo, buli bwetusaba obuyinza bwe, Tagabanako butono ku butono. Awa obuyinza bwe eri mukyano Ggwe. Bwe kityo, ffe abakiliriza mu Yesu tubeerawo n’obuyinza bwe obw’ekitalo. Mutabani wange ali naffe kati. Yajja ne mukwano gwe kino kye kyabaawo mutabani wange bwe yali mu Ssomero ly’abaana abato n’atuula omulundi gumu ku ttaka. Yasigala agwa ku ttaka. Samanya oba amagulu ge gaali gasanyaladde naye yali tasobola kusituka. Era mu kaseera ako, nnajjukira omusajja omulema gwe nasisinkana bwe nnakola obuweereza mu china. Tewali kubuusabuusa, oluvannyuma, ne musumba eyali nange, twamusabira, era n’awona. Okuva olwo, yagendanga nga abuulira enjiri. Waliwo omusajja omulala eyali atasobola kutambula okuviira ddala ku ddaala ery’okusoma ery’okutaano mpaka nga awezezza emyaka 25. Nnamubuuza,” Kijja kitya okubanga ggwe totambula?” Yagamba yatuula wansi amangu ago nga bwe yali atambula era okuva olunakku olwo teyasobola kuddamu kutambula. Yabeelawo nga omulema okumala emyaka 20. Era ne mujjukira. Kubanga mutabani wange yali agudde ku ttaka era n’atasobola kutambula, nnali ntidde. Ne bwenagezangako ntya okumuyamba okuyimuka, teyasobola kuyimuka. Nali ntidde nnyo era nengezaako okukwata ttaakisi okumutwala mu ddwaliro, naye ttaakisi yalinga tejja. Era awo nenzuula. “Kiiki kyenkola?” Obuyambi obukyasinze buli nange dda. Oyo Katonda eyali ne Ibulayimu ali nange kati. Omwoyo Omutukuvu ali nange.” Olw’ekyo, nasalawo okukozesa eddembe lyange ly’ampadde. “Siteekwa kutya. Nina obuyinza obuweereddwa Katonda!”Nateeka omutima gwange, nenkyuukira mutabani wange, era nendagira,”Mu linnya lya Yesu nkulagira Yimuka kati!” Mu kibwatukira mutabani wange yayimuka. Awo ne ndagila,”Dduka!” Era n’atandika okudduka. Teri kyamubaako awo oluvannyuma. Singa salina buyinza obwo, nandibadde nga ndi munakuwavu nnyo olunaku olwo era simanyi butya ebiseera by’omumaaso bwe byandibadde. Naye kyagonjoolwa mu ngeri ennyangu bwetyo. Kyaali kyangu nnyo nti abantu baagamba,” Nkakasa nga tekyabadde kya maanyi nnyo!”
Naye, tusisinkana ebibaddewo nga bino emirundi mingi nnyo okuyita mu bulamu bwaffe. Katonda oyo bulijjo abeeranga naffe era n’atuyamba. Singa twaali bakwogera buli kimu ky’akola tekyandisobose okubiyitamu byonna mu lunaku lumu. Obulamu bwaffe bwe bujulizi obutasalako.
N’olwekyo mbazaamu amaanyi okufuna omukisa guno ogusuubiziddwa Katonda. Era oteekwa okugufuna. Okusobola okufuula omukisa gwa Ibulayimu ogugwo, oteekwa okufuna Omwoyo Omutukuvu. Ekyo kye, oteekwa okufuna omwoyo wa Katonda munda mu ggwe. Kino si kugamba bugambi nti, “Osobola okusigala ku mabbali gange!” Oteekwa okumufuna munda mu ggwe. Kino nnaakinnyonyola okweyongerayo edda, mutendera ku mutendera. Abantu abamu balwadde ba bwongo abakoseddwa kubanga balina badayimooni. Naye tetuli mukubeera ne badayimooni. Mu kifo kyeko, Omwoyo wa Katonda ajja mu ffe. Bwe kityo, okukkiliriza mu Yesu kitegeeza okufuna Katonda oyo. Bulamu bupya nnyo ddala.
Mbawa omukisa mu linnya lya Yesu nti mazima mulinyumirwa omukisa gwa Ibulayimu nga ogwamwe mmwe. Nja kusaba.
Katonda kitaffe, nsaba nti buli omu akuŋŋaanye wano asobole mazima okufuna omukisa gwa Ibulayimu nga Bwewasuubiza edda ennyo, era nga Yesu Kristo bweyasaba nga afiira ku musalaba, yamba buli omu wano okufuna omukisa gwa Ibulayimu era okufuuka omukisa okuwa omukisa amaka gaabwe, abazzukulu, n’amawanga gonna okuyita mu bo. Mu linnya lya Yesu. Amiina!
Omusumba Ki-Taek Lee
Dayirekita w’Ekifo ky’Obuminsani ekya Sungrak