Yesu Kristo (Matayo 3:13-17)

Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya, n’atuuka ku mugga Yoludaani eri Yokaana, amubatize. Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng’agamba nti, “Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naye ate ggwe ojja gye ndi?” Naye Yesu n’addamu n’amugamba nti, “Kkiriza kaakano; kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’alyoka amukkiriza. Awo Yesu, bweyamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi; laba, eggulu ne libikkuka, n’alaba Omwoyo gwa Katonda nga gukka ng’ejjiba, nga gujja ku ye; laba, eddoboozi ne liva mu ggulu, nga ligamba nti, “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” (Matayo 3:13-17)

Ekyawandiikibwa kyetwakasoma kivudde mu Njiri ya Matayo, ekitabo ekisooka eky’Endagaano Empya. Kisangibwa mu bitundu ebisooka ebya Matayo Essuula 3, naye nga kino tekinaba, omusajja ayitibwa Yokaana Omubatiza alabika., Olugero luno lubaawo mu kifo ekimanyiddwa nga Palestiina, Isiraeri w’esangibwa. Waliwo ennyanja eyitibwa ennyanja eya Ggaliraaya, era omugga ogukulukuta okuva mu nnyanja gwe mugga Yoludaani. Ku nkomelero y’Omugga Yoludaani we wali Ennyanja eyitibwa enfu. Newankubadde nga eyitibwa ssemayanja ya Ggaliraaya, mu byaddala nnyanja. Olw’okubanga nnene nnyo, era eyogerwako nga ssemayanja.

Ekitundu ekyo wewo Yesu weyakoleranga obuweereza Bwe mu budde obwo, mu Galilaaya. Yokaana Omubatiza yalabika mu maaso ga Yesu, n’awa okubatiza okw’okwenenya eri abantu ba Isiraeri. Abantu bwe baali beematiza, nga balowooza,’Yee, Ndi mukugobelera eteeka lya Katonda mu bwesigwa!’ Yokaana Omubatiza yajja n’ababatiza, nga agamba,”Bantu mwe muli bonoonyi! Newankubadde mukkiriza nti mubaddenga mukuuma etteeka lya Katonda, temulikuumye! N’olw’ekyo, mujje era mwatule mu maaso ga Katonda,’Ndi mwonoonyi!”‘ Yabayambangako okunnyikibwa ddala mu mazzi. Singa baasigalanga wansi w’amazzi, bandifudde olw’amazzi, si kyo? Olw’ekyo, yabajjangayo mu mazzi nate.

Okubatiza, okusingira ddala okubatiza kwa Yokaana, ke kabonero k’okwenenya. N’olw’ekyo, Yokaana yayita okubatiza kwe nga “Okubatiza okuviirako okwenenya!” Kino kitegeeza okwewaayo ddala mu maaso ga Katonda, abo abaali bajjudde okwekkilirizaamu bajja eri Katonda, nga bafukamira mu kwewaayo ddala, nga bagamba, “Silina maanyi gonna! Ndi mwonoonyi. Nneetaaga obuyambi bwa Katonda! Nagezaako okwagala Katonda n’okukuuma amateeka ge ku lwange, naye silina maanyi yadde okukola ekyo. Nneetaaga obuyambi. Kiki kyemba nkola?” Abantu bano bajja eri Yokaana okubatizibwa. Ekyavaamu, abantu bangi baasimba enyiriri okubatizibwa.

Mu bo mwe mwaali Yesu nga ayimilidde. Naye, Yokaana Omubatiza yategeera nti Yesu yali wa njawulo bwe yajja gyaali. Olw’ekyo, Yesu bwe yajja gyeyali, yamugamba, ‘Nneetaaga okubatizibwa ggwe, olw’ekyo nnyinza ntya okukubatiza ggwe mu kifo kyekyo?” Era teyamanya kya kukola. Naye Yesu yaddamu,”Leka kibeere bwe kityo kati! Lwaki? Ky’ekisooka era ekisookera ddala nti tutuukiriza obutuukirivu bwa Katonda!” Mu bigambo ebirala,”Newankubadde tokitegeera kati, waliwo okwagala okunene okwa Katonda emabega wa kino. N’olw’ekyo, olina okumbatiza.” Era olw’ekyo, Yokaana yabatiza Yesu. Yakikola n’okutya era n’okwejjusa okw’obuziba kubanga yamanya nti Yesu teyalina kibi. N’olw’ekyo, yawulira ennaku kubanga yali abatizibwa nga abonoonyi bonna abalala. Ekyo nakyo kyalabika nga ekitali kya bwenkanya kubanga oyo eyali talina kibi yali ayisibwa nga omwonoonyi. ‘Naye katutuukirize omulimu gwetulina okukola mu maaso ga Katonda!”

Nga Yesu bweyabatizibwa era n’ava mu mazzi, Yalaba Omwoyo Omutukuvu, Omwoyo gwa Katonda, nga gukka ku Ye kennyini. Newankubadde nga omwoyo omutukuvu talabika, Asobola okweyoleka mu ngeri elabika kubanga Ye Katonda. Yesu yalaba Omwoyo Omutukuvu nga akka gyaali nga ejjiba. Era mu kadde ke kamu, eddoboozi lyava mu ggulu. Eddoboozi lyagamba ki? Yali Katonda nga ayogera ku Yesu. Yagamba,” Oyo ye Mwana wange, gwe njagala!” Era awo n’agamba,”Ye Omu gwensanyukira ennyo!” Bino bye ebigambo ebyayogerwa Katonda. “Oyo ye Mwana Wange gwe njagala; era gwe nsanyukira ennyo!”

Eno embeera ya njawulo nnyo ku ekyo abantu kye baali bamanyi emabega. Kubanga Yesu yajja okubatizibwa, ne abo abamussangamu ekitiibwa oba abalowooza nti yali wa njawulo ku balala bandibanga balowooza,”O, ye y’omu nga abalala bonna. Naye mwonoonyi!” Era olwa Yesu, ekyo kyandilabika nga ekitali kya bwenkanya. Kubanga Ye kennyini amanyi kyaali. Yatumibwa Katonda era talina kibi. Kyokka yabatizibwa. Awo, bweyabatizibwa era n’ava mu mazzi, waliwo eddoboozi okuva mu ggulu eryawa obujulizi, nga ligamba, “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” Obutuukirivu bwa Katonda butegeeza omutindo Katonda gw’asinga okusanyukira ennyo. Olw’ekyo, omuntu yenna bw’atuukiriza okwagala kwa Katonda, batuukiriza obutuukirivu bwa Katonda. N’olw’ekyo bw’ogobelera okwagala kwa Katonda, abantu bayinza obutakutegeera, okukunyooma, okukuyisa nga omwonoonyi oba n’okukulowooleza nga omusirusiru. Naye okusobola okutuukiriza obutuukirivu bwa Katonda, tulina okugumira ebyo byonna. Bwetukola bwe tutyo, Katonda ajja kutukkiriza abantu nebwebatatumanya. Olw’ekyo, Yesu bweyakola ekyo, Katonda kennyini yamukkiriza n’agamba,”Oyo ye Mwana Wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo!”

Kino kye kimu eri obulamu bwaffe obw’okukkiriza. Abantu bayinza obutatukkiriza. Okukkiliriza mu Yesu? Bayinza obutakkiriza ekyo. Ekirala, okusalawo kwo okujja mu kkanisa yaffe si kwe kwangu, n’okusingira ddala okulowooza ku bisoomooza ekkanisa yaffe byeli okulaba kati. Abamu bayinza n’okubuuza,”Lwaki wasalawo okugenda mu kkanisa eyo mu makanisa gonna?” Naye, omuze guno gubaddengawo okuva mu budde bwa Yesu. Abantu bangi baasonga ennwe eri Ye, nebamuyisa nga omwonoonyi okuva ku ntandikwa, era mu nkomelero, baamuwaayiriza nga omwonoonyi ne bamukomelera. Nga bwe yali awanikiddwa ku musalaba, abayitangawo baamuduulira, nga bagamba,”Yeeyita Omwana wa Katonda, era kati ali ku musalaba!” Abalala n’okugamba baagamba,”Bw’oba nga mazima oli mwana wa Katonda, weelokole  era okke wansi okuva eyo!” N’omumenyi w’amateeka eyali akomeleddwa ku mabbali ge  yagamba,”Welokole naffe otulokole!” Nga bwe yamusekerera, nga amuvuma, era nga amunyooma. Naye, tukkiriza, tugobelera era tumuweereza nga Omu Katonda gw’ayagala era gw’asanyukira. Kuno kwe kukkiriza kwaffe. Okumukkilirizaamu n’okumugobelera, oyo abalala gwebaduulira, gwebalumbaganya, era gwebasekerera, nga Mukama waffe, Omulokozi, era Katonda kwe kukkiriza kwaffe.

Nze ku lwange, newankubadde ekkanisa yaffe eyita mu budde obw’okusoomoozebwa, kindeetedde okwetunulamu n’okutegeera,”Ah! Buno bwe butya okukkiriza kwaffe bwekulina okuba, si kyo?” Okukkiriza kwaffe kuli ku musingi gw’okussamu ekitiibwa n’okuweereza, oyo abalala gwebanyooma, gwebaduulira, era gwebagaana nga Katonda waffe era Mukama waffe.

Katonda bweyayita Yesu nga “Mwana wange gwe njagala,” Kiki ddala ekigambo “Mutabani” kye kitegeeza? Katonda yazaala Yesu? Kitegeeza nti Yesu wa kitiibwa ekitono, era Katonda wa kitiibwa kinene, era n’olw’ekyo okugamba, “Mwana Wange” kitegeeza “Oteekwa kufukamira mu maaso Gange”? Kyangu eri ffe abantu okulowooleza mu ngeri esinziddwa ku nono zaffe ezimanyiddwa, naye Bayibuli ekolesa ekigambo ”Mwana,” kitambuza endowooza ey’enjawulo ku ekyo kye tulowoozaako. Mu buwangwa bwa Korea, waliwo enjawulo mu nnyimirira wakati wa bataata n’abatabani, abatabani basuubirwa okugondera n’okussaamu ekitiibwa bakitaabwe. So nga ensonga eno eri kitundu ku nkolagana, endowooza enkulu esaana okutegeerwa eri nti “Omwana” kitegeeza kwenkana ne Kitaawe. Eno y’ensonga enkulu. Bwe kityo, Katonda bw’agamba,”Ye Mwana Wange,” mu bukulu kitegeeza “Wenkana nange!” Kino kyawukana mu ngeri emu oba endala okuva ku ekyo kye tumanyi bulijjo.

Mu biseera eby’edda, abantu baakolanga ki bwebayongeranga obugagga bwabwe? Omuntu bwaba nga yalina ebikumi by’endiga n’ebikumi by’ente, era oluvannyuma n’afa. Era awo ani yandisikidde obugagga bwe? Bwandisikiddwa mutabani we. Olw’ekyo, bw’aba nga kitaawe yalina endiga kikumi, ndiga meka omutabani zeyandibadde nazo oluvannyuma? Omutabani yandibadde n’ezo ze zimu kikumi. N’olw’ekyo, Katonda yali agamba,”Yeggwe Omu alisikira byonna bye nina! Olisikira erinnya Lyange! Oliba n’obuyinza bwe nina! Oli Mwana Wange Omwagalwa!”

Olw’ekyo, abantu bwebaalaba Yesu ku nsi okuyita mu kujjuzibwa kw’Omwoyo Omutukuvu, balina kyebaalaba mu Ye: ekitiibwa ky’omwana yekka owa Katonda. Bwetugamba “omwana omu yekka,” batabani bameka abaliwo bonna awamu? Omu yekka, kituufu? Singa waaliyo abatabani babiri era kitaabwe nga alina endiga kikumi, buli mutabani yandifunye ataano, nga tuteebereza nti zaali zigabanyiziddwa kyenkanyi. Bwe kityo era singa waaliwo abatabani babiri era n’olaba omu ku bo, ekyo ddala kyandibadde kye kimu nga okulaba kitaabwe? Nedda,tekyandibadde bwe kityo. Singa olabako omu ku batabani, wandibadde nga alaba ekitundu kya Kitaawe, ekiri ataano ku buli Kikumi. Naye, ekigambo “Omwana omu yekka” kitegeeza waliwo Omu yekka era Omutabani Yekka. Okugeza, singa kitaawe yalina endiga kikumi, yasikisa zonna eri mutabani we yekka. Olw’ekyo, bw’olaba Omutabani, ani gw’olabye? Olabye Kitaawe! N’olw’ekyo, kitegeeza nti bw’otunuulira Yesu, osobola okulaba Kitaawe wa Yesu 100%. Okugamba,”ekitiibwa ky’omwana yekka” kilaga kino: “Okulaba Yesu kye kimu n’okulaba Kitaawe.”

Mu ngeri eyo, ekigambo “Yesu ye mwana yekka owa Katonda ” kisoboka nakyo okulagibwa mu ngeri endala — Yesu ky’ekifaananyi kya Katonda” mu bukulu kituusa amakulu ge gamu. Kiyinza okugambibwa nga,”okulaba Yesu kitegeeza kulaba Katonda Kitaffe.” Okugattako, kiyinza okulagibwa nga “okukkiliriza mu Yesu kwe kukkiliriza mu Katonda Kitaffe eyamutuma.”

N’olw’ekyo, Katonda Kitaffe bwe yagamba,”Yesu ye Mutabani Wange gwenjagala,” kitegeeza nti Yesu yenkana ne Katonda. Newankubadde nga Yali muntu, era yali yakabatizibwa era nga avudde mu mazzi. Abantu ab’omubiro ebyo baanaabanga amaaso buli lunaku? Baasenyanga buli lunaku? Enviiri zaabwe baazinaabangamu buli lunaku?

Kyokka, nga ojjeko endabika Ye eyali efuuse embi ate nga ya bbugumu, Katonda yagamba,”Yenkana Nange!” Omu yenna ayinza atya okukkiriza kino? Naye, tusobola okukkiriza nti Katonda bw’atuwa ekisa kye; Bw’atuyamba. Ani asobola okufuna obuyambi nga buno okuva eri Katonda? Abo abafukamira mu maaso Ge era ne baatula,”Ndi mwonoonyi!” basobola okutegeera ekyaama kino.

Kakati ffena tutegeera kino. Tutegeera nti Yesu ye Omu eyenkana ne Katonda. Naye oluvannyuma lw’ekyo, Katonda yagamba “oyo gwe nsanyukira ennyo.” Okubeera omwana kileeta essanyu bulijjo? Tekyetaagisa: ebiseera ebisinga, abatabani basobola okuleeta ennaku. Emirundi mingi, mutabani wo abeera tasanyusa gyoli, nga y’ensuulo y’omutima oguluma. Naye, Katonda bweyagamba,”Ono ye Mutabani Wange gwenjagala; era gwensanyukira ennyo,” kitegeeza nti Mutabani We yaali mugonvu eri Ye. Ekitegeeza nti Katonda yali amulagidde okukola ekintu ekimu, kituufu? Kitegeeza kino: “Akoze buli kimu kye nnamulagira. N’olw’ekyo, musanyukira!” Mu bigambo ebirala, Yesu ye Omu eyakola buli kimu Katonda kye yamulagira n’obwesigwa, nga agondera n’obuwulize n’okutuuka okufa. Ye muweereza wa Katonda!” Okugamba “Yesu ye muweereza wa Katonda” kwe kugamba “Yesu ye Kristo.”

Ekigambo “Kristo ” kitegeeza okuweereza. Kitegeeza eyafukibwako amafuta; oyo Omu akozesebwa Katonda; oba omu akola omulimu gwa Katonda. Lwaki oyo omu eyenkana ne Katonda yandyagadde okuba omuweereza? Tekilabika nga ekiganyulwa, naye alina ebisaanyizo byombi. Waliwo enjawulo ya maanyi wakati wa “Mutabani wa Katonda” ne “Kristo.” “Oyo Omu eyenkana ne Katonda yafuuka omuweereza wa Katonda, n’ajja ku nsi, n’agondera ddala Katonda, era n’atuukiriza okwagala kwa Katonda. N’olw’ekyo, oyo Omu eyenkana ne Katonda era ye Omu Katonda gw’asanyukira. Buno bwe butya Yesu bwe yajja.” Kino kyetukkilirizaamu.

Lwaki oyo omu eyenkana ne Katonda abeera ajja wano okuyita mu kuboonabona okwo kwonna? Lwaki Ye, eyenkana ne Katonda ajja wano n’akomelerwa? Lwaki? Ani yamuleetera okukola ekyo? Ani eyamulagira? Katonda ye yakikola. Lwaki Katonda yamulagira okulola ekyo? Okuwonya ffe. Kyaali lwa kuwonya ffe kubanga twaali tuboona bona mu kibi; twaali wansi w’ekikolimo era ku kubo eridda eri ekiboneerezo eky’olubeerera. Y’ensonga lwaki Katonda yatuma Omwana we Omwagalwa, oyo omu eyenkana ne Katonda, okugumira okuboonabona nga kuno. Olw’ekyo, bwetulaba butya Yesu – Oyo Omu eyenkana ne Katonda – bwe yajja era n’aboonabona mu ngeri bw’eti ku lwaffe, nga agondera buli kimu Katonda kyeyamulagira, tusobola awo okulaba kika kya Katonda ki kyaali. Olw’ekyo, Katonda afaanana atya? Ye Kwagala.

Katonda kwagala, kituufu? Yatuma Omwana we Omwagalwa ku lwaffe; Yalaga omukwano nga guno olwa ffe abantu. N’olw’ekyo, okugamba, “Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda” kye kimu n’okugamba nti Katonda ye ani? “Katonda kwe kwagala .” Ekyo kye kitegeeza. Y’ensonga lwaki Bayibuli etandika nakyo mu kitabo kya Matayo mu kugamba, “Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda!” Era awo okumpi n’enkomelero ya Bayibuli mu 1 Yokaana n’okwatula, “Katonda Kwagala!” Era awo n’ejja ku nkomelero.

N’olw’ekyo okukkiriza kwaffe kuli ku kufuna omukwano gwa Katonda. Era engeri ey’okugufunamu kwe kuddamu nti ” Yee oli mutuufu!” eri buli kimu ekya Katonda. Okuva nga Katonda yalangirira eri Yesu, “Ono ye Mwana Wange gwe njagala!” tulina okuddamu mu kukkaanya era tugambe,”Yee, ekyo kituufu ddala! Yesu ye Omu eyenkana ne Katonda, Mutabani wa Katonda!” Era, nga Katonda bweyalangirira, “Gwensanyukira ennyo!” naffe tulina okuddamu, “Yee, ekyo kituufu! Yesu ye Kristo.” Obulokozi busangibwa olw’abo abayatula mu ngeri eno. Kuva nga Katonda yagamba, “Yesu ye Mutabani Wange gwenjagala era gwensanyukira ennyo,” okukkiriza okutulokola kwandibadde kutya? Okukkiriza kwaffe kwe kukkiliriza n’okwatula, “Yesu ye mwana wa Katonda era ye Kristo! Yenkana ne Katonda, kyokka Yagondera Katonda okutuusa okufa! Yesu yalaga omukwano gwa Katonda mu butuukirivu bwa gwo!” Katonda awa obulokozi eri abo abalina okukkiriza kuno, era emitima egyo gileteebwa awamu okufuuka ekkanisa.

Bwe kityo, ekkanisa, nga kw’otadde, ekkanisa ya Sungrak na buli kkanisa okuyita mu nsi yonna, ezimbibwa ku kukkiriza kuno. Mbawa omukisa nti mulinyweeza okukkiriza kuno okutuusa ku nkomelero. Waliyo emigaso eminene ku kutwala amazima gano. Era nga bw’obeera mu bulamu bwo obw’ekkanisa, ojja kuzuula ku gyo. Okweyongerayo, okuweereza Katonda eyatuwa Mutabani We bwe bulamu bwaffe obw’okukkiriza. Mbawa omukisa mu linnya lya Yesu okuba abawanguzi mu bulamu bwammwe obw’okukkiriza.

Katonda Kitaffe, webale okutuweereza Mutabani wo omwagalwa, Yesu. Era webale Yesu kubanga Yeggwe Omutabani eyagondera Kitaawo okutuusa okufa era n’otuukiriza okwagala kwa Katonda. Okuyita mu mukwano gwa Katonda ne ssaddaaka ya Yesu Kristo tulokoleddwa era tyfunye obulamu. Tuyambe okumanya ebisingawo ku kwagala kwa Katonda n’okusaasaanya obulokozi eri abantu bangi. Tusaba nti Katonda waffe aliwa ekisa eri abo abatandika obulamu bwabwe obw’okukkiriza, olw’ekyo nti bandifuuka omukisa okuyita mu bo emyoyo mingi mweginaweebwa omukisa. Mu linnya lya Yesu. Amiina.

Omusumba Ki-Taek Lee
Dayirekita w’Ekifo ky’Obuminsani ekya Sungrak